Abaagala essanyu mukomye obukambwe n'olunkulu mu bufumbo

MBALAMUSIZZA bawala bange. Mwebale kutambulira mu kkubo ly’obufumbo eggolokofu ebbanga lyonna nga bwe mwakuba ebirayiro. Embeera eno eteeka obufumbo bwammwe mu musana ne busobola okuyita mu buli mbeera omuli ey’essanyu n’ennaku. MBALAMUSIZZA bawala bange. Mwebale  kutambulira mu kkubo ly’obufumbo eggolokofu ebbanga lyonna nga bwe mwakuba ebirayiro. Embeera eno eteeka obufumbo bwammwe mu musana ne busobola okuyita mu buli mbeera omuli ey’essanyu n’ennaku. 

Naye nno,waliwo ensonga  ze ndaba ezitatambula bulungi  ze mulina okutunulamu ku lw’obulungi bw’amaka gammwe. Muyitirizza obukambwe n’olunkulu ekibatabula sinnakindi n’okusaanyaawo amaka.

Mwefuula ba landiroodi mu maka gammwe ne mudda ku basajja okubasiimulizaako ettoomi. Abalala mukwata n’emiggo ne musuza batabani bange ku budde olw’ebyo ebiba bitatambudde bulungi. Baana bange okugalulira omusajja oluyi kikolwa kya bujoozi kye mutalina kwesembereza.

Ate mmwe abanywa ku mwenge mufuuka ekirala anti olunywamu ne mutabukira abasajja  kwagala kubatungulamu maaso. Olaba musibira abasajja ebweru w’ennyumba ze baakeera enkya ne bazimba! Ennyumba mu mazima  ne bw’eba nga  ggwe wagizimba  tosaanidde kudoobya munno kutuuka ku ssa eryo.

Temukoma awo naye mumanyi n’okumma abasajja emmere basajja battu ne basula enjala. Ebyo byonna tebizimba maka okuggyako okugazimbulula  n’okugazza emabega. Ensonga zonna ezisobye mu maka muzitunuulire mu ngeri ya kintu kikulu nga mumanyi nti mu nsi teri atasobya.

Leero oyinza okulowooza nti oli wa bbeeyi era wa kitalo nnyo kubanga osinga ku munno ssente naye ensi eno engeri gye yakolebwa nga nnetooloovu, bujja kukya nga weetaaga  munno  gwe waliisanga akakanja n’okusuza ku budde akuyambe.

Muyige okutambuliza obufumbo bwammwe ku mulamwa gw’omukwano. Mu mbeera eno, bwe wabaawo ensonga yonna etatambudde bulungi, mukozese ofiisi yammwe ey’ekisenge okulaga munno ekkubo ly’olowooza nti lye ttuufu.  

Abaagala essanyu mukomye obukambwe n’olunkulu mu bufumbo