Abasawo balaze enkola za kizaalaggumba eziwa emirembe

MU kaweefube w’okwetegekera ezzadde n’okukendeeza ku muwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya, Marie Stopes Uganda ne Uganda Health Marketing Group batongozza kaweefube w’okusomesa n’okutumbula enkola za kizaalaggumba empanvu.

 

 

 

 

 

 

MU kaweefube w’okwetegekera ezzadde n’okukendeeza ku muwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya, Marie Stopes Uganda ne Uganda Health Marketing Group batongozza kaweefube w’okusomesa n’okutumbula enkola za kizaalaggumba empanvu.

Emily Katarikawa okuva mu Uganda Health Marketing Group agamba nti mu Uganda, abakyala 16 be bafa nga bazaala buli lunaku sso ng’abakazi akakade kalamba abali mu myaka egizaala be batasobola kufuna mpeereza za kizaalaggumba ekireetera omuwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya okulinnya buli kiseera.

Enkola za kizaalaggumba ezimala ekiseera ekiwanvu mulimu:

Akaweta (IUD)
Akaweta y’emu ku nkola za kizaalaggumba ezimala ebbanga eddene era kano kateekebwa munda mu nnabaana.

Tekaliimu ddagala likyusa mpulirizo za mubiri, wabula kaliko obuuma obwa kkopa obuyokya enkwanso ekiziziyiza okusisinkana amagi g’omukyala n’atasobola kufuna lubuto.

Omukyala bw’akozesa akaweta ayinza okufuna amatondo g’omusaayi oba nga mungiko, naddala mu myezi egisooka nga yaakatandika okukakozesa kuba kaba tekannamanyiira mubiri, wabula oluvannyuna atereera.

Ayongerako nti eno y’emu ku nkola esinga obulungi kuba osobola okukaggyamu ekiseera kyonna kyoba oyagadde okuddamu okuzaala ne bwoba nga tonnamalayo bbanga lyako.

Kapiso ze bateeka mu mukono (Implants);

Enkola za kizaalaggumba zino zirimu ebirungo n’eddagala eriziyiza amagi okukula okuziyiza okufuna olubuto. Eddagala lino liteekebwa mu mukono wansi w’olususu.

Likozesebwa okuva ku myaka esatu okutuuka ku etaano okusinziira ku bbanga lyoba oyagala okumala okusobola okuddamu okuzaala.

Ez’enkalakkalira;
Enkola za kizaalaggumba ez’enkalakkalira za mirundi ebiri. Waliwo ez’abasajja (vasectomy) n’ezabakazi (BTL).

Enkola zino zisinga kwettanirwa abantu abakooye oba abaagala okubakomya okuzaala naddala ng’abaana b’olina bakumala.

Mu nkola za kizaalaggumba ez’enkalakkalira, abasawo bakulongoosa ne basala enseke omuyita amagi n’enkanso okuziyiza okuddamu okuzaala.

Abasawo balaze enkola za kizaalaggumba eziwa emirembe