Ku Ssekukkulu ow'ewange lwe mmukwasa ebisumuluzo by'enju

ABANTU batonera bannaabwe ebirabo eby’enjawulo naddala mu biseera bino.ABANTU batonera bannaabwe ebirabo eby’enjawulo naddala mu biseera bino.

Ye Augustine Mwesigwa ow’e Nateete agamba nti ekirabo ky’alaba ekigya mu maama w’abaana be, Josephine Nalukyamuzi omwaka guno kwe kumukwasa ebisumuluzo by’ennyumba gy’amuzimbidde.

Abaagalana bano bamaze emyaka musanvu mu bufumbo mwe bazaalidde abaana bana.
Mwesigwa agamba nti; “Bukya tutandika kubeera ffembi Kulisimaasi zizze zitutambulira bulungi wabula twesunze nnyo ey’omulundi guno.

Nnakola enteekateeka ne ntandika okuzimbira mukyala wange n’abaana baffe era nga njagala agiyingire ku Ssekukkulu y’omwaka guno, era nneebaza Katonda annyambye okutuukiriza enteekateeka eno.

Ku lunaku olwo lwe ng’enda okumukwasa ebisumuluzo by’amaka ge nga mmwebaza okundabirira n’okunzaalira”, bwatyo Mwesigwa bw’agamba.

Ye Nalukyamuzi nga yenna abugaanye essanyu yagambye nti Ssekukkulu y’omwaka guno egenda kuba ya njawulo nnyo mu bulamu bwe bwonna, era mwetegefu okubikka bba laavu. 


Ku Ssekukkulu ow’ewange lwe mmukwasa ebisumuluzo by’enju