Eyannemya okusoma anneefuulidde

NZE Brenda Namayanja. Nnina emyaka 18. Mbeera Bukwenda Busawula. Mbadde mu bufumbo emyaka esatu era nnina omwana ow’omwaka ogumu n’emyezi mwenda.

NZE  Brenda Namayanja. Nnina emyaka 18. Mbeera  Bukwenda  Busawula. 

Mbadde mu bufumbo emyaka esatu era nnina omwana ow’omwaka ogumu  n’emyezi mwenda.

Okufumbirwa nnadduka ku ssomero nga ndi mu S3  oluvannyuma lw’okufuna omulenzi eyali andidde obwongo. Omulenzi ono  yansuubiza ensi n’eggulu era n’annemya okusoma.

Nnalaba ng’okusoma kummenyera bwereere kwe kudduka ku ssomero ng’ende mbeere n’olulenzi lwange.   

Kino kyanyiiza nnyo bazadde bange bwe baakitegeera nti ebyokusoma  mbivuddeko nneefumbizza era nga tebakyayagala kundabako.   

Nnasalawo okubeera  n’omwagalwa wange Silver  era mu kusooka ebintu byali birungi nga sijjula, olaba ne famire  yange nnali sikyagifaako, ng’omulenzi yafuuka  famire yange era  nga ye buli kimu  gyendi. 

Wabula olwafuna olubuto ensi n’entabukira anti omulenzi yanneefuulira.  Yatandika okunywa  omwenge  n’okunkuba kumpi buli lunaku. Kuno yassaako okungobaganya nzire ewaffe kyokka nga  bakadde bange tebakyayagala kundabako. 

Nnejjusa olunaku lwe nnasisinkana omuvubuka ono mu butuufu sitaani yankema! Abavubuka  bangi  abaankwananga  naye nga mbagaana anti nga nninda atuukiridde (Mr. Right). Bannange omuntu gwe nnalaba  ng’ow’obuvunaanyizibwa andabizza ennaku etalojjeka! Mukama yannyamba  ne nzaala omwana wange.  

Omuvubuka ono  okumanya talina mpisa, bwe yalabye angoba nga sigenda n’atandika  obutampa ssente za mmere n’okumpaanira abakazi b’akwana nga bwe bansinga okumanya omukwano era nti simusaana. Olumu baganzi be abaleeta mu nnyumba  ne beesa empiki nga mpulira, anti nsula wansi!  

 Bw’alabye ankoze bino  byonna nga sivaawo kwe kusalawo okunzigyako omwana wange abadde abampa essanyu era gye yamukweka sibamanyi bulungi era sirina we ntandikira kumunoonya kyokka  bwe namumusabye yasazeewo kunkuba  emiggo egyandeeseko ebisago ku mutwe. 

Nsaba Silver onzirize omwana wange n’abazadde  mmunsonyiwe, saamanya nti biriba bwe biti.

Nkubirizza abawala mwenna okunywerera ku kusoma kuba eby’okuganza abalenzi n’okwefumbiza temuli kalungi.

Eyannemya okusoma anneefuulidde