Eby'abakyala nnabyesonyiwa

NZE Peter Ssekyondwa nnina emyaka 44, nga nzaalibwa Namayumba mu disitulikiti y’e Wakiso era eno gye nasomera. Nnatandika eby’omukwano nga nkyali mu ssomero.

NZE Peter Ssekyondwa nnina emyaka 44, nga nzaalibwa Namayumba mu disitulikiti y’e Wakiso era eno gye nasomera. Nnatandika eby’omukwano nga nkyali mu ssomero.

Wabula engeri gye nnali omuto mu myaka, byonna ebyantuukako nabitwala ng’essomo. Nnasalawo ne nfuna mwana munnange, eyali asinga obulungi ng’ayogeza abantu naddala basajja bannange obwama.

Omuwala ono namuyitanga ‘kikwano’ olw’okulabika nga bbebi n’okumpa omukwano omujjuvu omutali bbala buli kiseera. Twasalawo okweyagala okutuusa okufa.

Nze ne mukyala wange twatandika mpolampola okwezimba era wano engeri gye nnali omuzimbi, natandika okufuna emirimu abantu ab’enjawulo nga bampita okubazimbira era wano mwe twaggyanga ekyokulya era waayita akabanga, omukyala
n’afuna olubuto lw’omwana waffe eyasooka.

Oluvannyuma lw’okuzaala, omukwano gwaffe gweyongera era wano twafuna n’ekirowoozo ky’okutandika okwetegekera okwanjula kwaffe wabula oluvannyuma omukyala n’asalawo tusooke kuzimba era nazaalayo n’omwana omulala.\

Wabula ekyanneewuunyisa, omukyala yatandika okukyusa enneeyisa ye. Nnamuwa obudde okwerowooza nga ndowooza nti ajja kukyusa wabula embeera yayongera okwononeka. Era lumu namusanga mu kibanda kya firimu ng’ali n’omusajja gwe ssaategera.

Kino kyankuba wala olw’ensonga nti omukyala gwe nnali nneesiga okukuza abaana bange, yali agenze n’omusajja omulala nga atuleseewo era kwe kusalawo twawukane era n’abaana bange ne mbamuggyako ne mbawa jjaaja waabwe.

Olw’ebirowoozo ebingi n’okwagala kwe nnali nnina eri mukyala wange, nnasalawo okwenywera walagi wange ng’ono y’ammalako ennaku era kati eby’abakyala nnabyesonyiwa era seetaaga kumanya.

Eby’abakyala nnabyesonyiwa