Ttica yanfunyisa olubuto n'ampaaza

Essomero mu kiseera ekyo lyategeka okulambula nga ffenna tulina okugenda wabula ebyembi olunaku bwe lwatuuka, nasanga emmotoka eyalina okututwala ng’esimbudde.

OMUSAJJA eyanfunyisa olubuto nga nkyasoma sigenda kumwerabira mu bulamu bwange. Nze Sylvia Rubby nga mbeera Mpereerwe ku lw’e Gayaza.

Obuzibu bwantuukako nga nsoma S3 mu ssomero erimu e Mbale mu 2003.

Essomero mu kiseera ekyo lyategeka okulambula nga ffenna tulina okugenda wabula ebyembi olunaku bwe lwatuuka, nasanga emmotoka eyalina okututwala ng’esimbudde.

Omu ku baali bakulira essomero yantuukirira n’ahhumya era n’ansuubiza nga bwe yali agenda okuntwala gye twalina okugenda okulambula.

Twasimbula okuva ku ssomero wabula ekkubo twakwata ddala kuba yantuusiza mu loogi nga nkirako ali mu buwambe era yannyingiza ku kifuba.

Olwamala okunkolako eby’ensonyi, yantwala butereevu e Tanzania gy’azaalibwa.

Nga ndi ewaabwe, nakizuula nti yanfunyisa olubuto. Nasanga akaseera akazibu kuba yandekayo n’akomawo ku ssomero gye yali asomesa nga kizibu okumanya ekyali kigenda mu maaso kuba tewali yali akitegeddeko.

Yankuumira mu maka ga bakadde be okumala akaseera nga sirina ayamba. Empuliziganya yali nzibu nnyo kuba nali simanyi Luswayiri ate nga nabo tebategeera Lungereza.

Nabonaabona n’olubuto okutuusa bwe nazaala. Okuva lwe yantwala, yalabikako emirundi ebiri gyokka.

Nalaba nsobeddwa eka ne mu kibira, kwe kugenda ku poliisi emu e Tanzania ne nzigulawo omusango.

Baatandikirawo okukola okunoonyereza okutuusa lwe bankomyawo mu Uganda omusango ne bagukwasa poliisi ya wano.

Omusomesa yakwatibwa n’aggulwako omusango kyokka baategeeragana ne bazadde bange n’akkiriza okumpeerera okutuusa lwe namaliriza emisomo gyange.

Nneebaza Katonda kubanga namala ne nfuna omusajja eyannaazaako ennaku ya ttica. Ono namwanjula mu bakadde bange era ankoledde ebirungi bingi.

Mmusuubiza okumulaga omukwano ogutaliimu makuuli n’okumuzaalira abalongo kubanga gwe nfiirako.