Emiggo n'ensambaggere bintamizza eddya

Baze ye Kaddu ng’alina emyaka 70 kyokka andabizza ennaku eterojjeka. Nga Kaddu ansaba omukwano, yeegonza ne hhamba nti wadde mwavu kammuwe omutima gwange. Nagambanga mu mutima nti tujja kukola mpola twezimbe.

BAKYALA bannange baabadde mu keetalo nga bakuza olunaku lw'abakyala mu nsi yonna, nga nze ndi waka mu maziga nnyiga biwundu by'emiggo n'ensambaggere baze bye yantuusizzaako.

Nze Nnaalongo Rose Tumusiime, 35, mbeera Buwaya Ssazi mu ggombolola y'e Kasanje mu disitulikiti y'e Wakiso.

Baze ye Kaddu ng’alina emyaka 70 kyokka andabizza ennaku eterojjeka. Nga Kaddu ansaba omukwano, yeegonza ne hhamba nti wadde mwavu kammuwe omutima gwange. Nagambanga mu mutima nti tujja kukola mpola twezimbe.

Ekyasinga okuntengula, nalaba nga musajja mukulu ne nsuubira nti ajja kumpisa nga bbebi kubanga bulijjo mpulira bagamba nti abasajja abakadde bawembejja abakazi.

Engeri gye yali attuuludde, nalowooza nti n'obwongo bukulu era waabuvunaanyizibwa. Namusanga alina abaana bataano era omukulu kati wa myaka 50.

Nze nalina omwana omu. Omusajja yali takola nga nze mpakasa ku kyalo ne nfuna ssente ezitubeezaawo n’abaana baffe.

Kaddu ekiseera kyatuuka n'atandika omulimu gw'okusima omusenyu mu poloti y'awaka, enfuna ye n’etereera era n'ansuubiza okunzimbira ennyumba kuba ebiseera ebyo nali mmuzaaliddeyo omwana.

Wabula bino byonna yansuubiza byoya bya nswa kuba waayita ekiseera kitono n'aganza muliraanwa waffe olwo ffe n’atutwala e Nsumba ennaku gye twagiyonkera obutaaba.

Ekisinga okunnyiiza, omusajja ono tampa kitiibwa yadde abaana be. Asusse okumpisa nga eky'oku ttale ng'ansiibya ku miggo n'ensambaggere n'obutalabirira baana bange ababiri be namuzaalira.

Ekyantabudde ne nsalawo okunoba, yankubye n’abaana bange n'okunsiba emiguwa.

Olwamaze okundijja ku miguwa yadduse aleete ejjambiya anteme wabula yasanze nneesumuludde dda ne nziruka. Ensonga zino zansusseeko ne nzitwala ku poliis