'Nkooye obufumbo bw'emiggo'

Nze Shina Zeina Duudu. Mbeera Katooke. Nnina emyaka 18. Nafumbirwa nkyali muto ddala ku 17 olw’embeera gye nalimu.

GWE zisanga azigumira naye nze ntabuddwa! N’emyaka gye nnina mito, ssinga mbadde mukulu osanga nandibaddeko n’amagezi agannyamba okusomoka ebizibu bye ndimu.

Nze Shina Zeina Duudu. Mbeera Katooke. Nnina emyaka 18. Nafumbirwa nkyali muto ddala ku 17 olw’embeera gye nalimu.

Omusajja eyampasa yanzigya mu ssomero n’anfunyisa olubuto. Nali mbeera wa maama ku kyalo ekimu.

Nga ntegedde nti ndi lubuto maama yatandika okunkaza mmubuulire nnanyini lubuto amutwale mu mateeka bamuvunaane.

Wabula, nze nalowooza ku bya kutaasa musajja wange nga mmanyi kye kinannyamba era saayogera gye yali abeera ne ηηuma.

Bwe nalaba maama annemeddeko, nabuulirako omulenzi wange n’ansaba ηηende mmufumbirwe ne mbula awaka ne ηηenda gy’asula ne tusenguka we twali ne tugenda ku kyalo ekirala.

Namala ebbanga nga ne mu nnyumba sifulumamu nga mmanyi nti bayinza okuba nga banteekako bambega ne bankwata.

Yampasa era ekiseera kyatuuka ne ntandika okufuluma mu nnyumba nga sijula kuba buli kimu nali nkifuna.

Wabula kyambuukako okulaba ng’omwami wange atandiikiriza okunywa enjaga ate nga buli lw’aginywa empisa zisiiwuuka.

Omukka nga gumpunyirira ne mpisibwa bubi kyokka nga buli lwe mmugambako ankuba bubi n’okungoba mmuviire.

Bwe nalaba nga n’emmere takyasobola kugimpa ne nfuna omulimu nsobole okufunayo ku kasente.

Mbadde namusuubiza okumuzaalira omwana naye sigenda kukikola kubanga empisa ze si nnungi omwana waffe ajja kubonaabona.

Kati ekizibu kye nfunye nayagadde okuggyayo engoye zange ηηende nkole gye nafunye omulimu n’ankuba era engoye zange yazisibidde mu nnyumba.

Nsobeddwa, simanyi kyakumukolera kubanga nkyali mwana muto.