Gwe nalonda mu bbaala anzibye

OMUWALA gwe nasanga mu bbaala ne mmwegomba asibye eby’omu nju byonna. Nze Denis Daaki nga nzaalibwa Jinja.

Daaki

OMUWALA gwe nasanga mu bbaala ne mmwegomba asibye eby’omu nju byonna. Nze Denis Daaki nga nzaalibwa Jinja.

Mbeera Mengo mu Lubaga wano mu Kampala. Mikwano gyange ne basajja bannange abalala gye boogerera ebirungi bye bafunye mu bufumbo, nze sibaayo kubanga mbwevuma. Namala ebbanga nga nneegomba obufumbo nga njagala nange okuyitibwako mwami, taata n’ebiringa ebyo.

Omuwala ono namusanga mu bbaala emu e Kibuye ku lw’e Salaama ng’anywamu Nga bw’omanyi nti omwenge guwooma ebbali olinawo gw’oyita ‘sswiiti,’ mwanamuwala ono namulumba era gye byaggweera nga tuli mu mukwano omuzibu.

Omuwala teyankaluubiriza era yakkiririzaawo. Nasooka kulowooza nti osanga naye yali anoonya olwo ne nneebaza Mukama okumumpa.

Nga wayise emyezi munaana, namusaba tutandike okubeera ffembi ng’omwami n’omukyala era n’akkiriza okujja ewange.

Olw’omukwano omungi gwe nalina gy’ali, namukolera bizinensi y’okufumba cipusi.

Bwe twali twakamala emyezi esatu nga tubeera ffembi, yansaba mmufunireyo ku ssente ave mu cipusi akole ebbaala.

Eby’embi, ebiseera ebyo ssente zaali zikendedde era ekyo saakituukiriza. Mu kusooka saakeeranga ku mulimu kubanga nali nnina omwana eyakeeranga n’ankolerawo.

Wabula oluvannyuma nawulira ng’obutakeera kuva waka kimmenya kubanga omuwala yakeeranga kunvuma ng’ayomba olw’obutamuwa ssente kukola bbaala.

Lumu nakeera mu Kampala ku kizimbe okusuubula ne mmuleka awaka nga bulijjo. Nali nkola butaweera nga njagala nfune ssente z’ebbaala z’ayagala nzimuwe mpone ebivumo.

Wabula kyambuukako bwe nakomawo awaka ekiro ne nsanga ng’enju entunuulidde.

Ennyumba yali nkalu ng’asibye buli kintu awatali kutaliza na ngoye zange! Engoye ezaali zitamutuuka yaleka azookezza era nasanga vvu wabweru w’ennyumba. Kale nneevuma olunaku lwe namusanga kubanga yanziza nnyo emabega.

Yeetikka ebintu bye nali nkoledde emyaka n’ebisiibo. Kati abawala mbatya era mu maaso gange bonna mbalaba nga bayaaye anti eyalumwa ku musota ne bw’alaba omuguwa yeekanga.

OMUKUGU AMUWABUDDE

Omukugu mu kubuulirira okuva mu Great Hope Counseling Center e Luwafu agamba: Wapapira omuwala ate tewamuggya mu kifo kituufu eky’obuvunaanyizibwa.

Ebbaala zibeeramu abantu bangi abalina ebigendererwa eby’enjawulo. Sooka weesonyiwe eby’abakyala, ebiwundu ebikuli ku mutima biwone.

Naye bw’oddamu okufuna omubeezi sooka omusome, omuyige olwo ojja kweyagalira mu mukwano. Vva ku bawala b’omu bbaala kuba baba bayaaye.