Naaba ntya mu bukyala?

Naaba ntya mu bukyala?

 Ssenga

NDAGIRIRA engeri gye nnaabamu mu bukyala. Nze neesokoola munda naye enseke zinnuma. Nze Rose.

ROSE mwana wange, okusookera ddala abakyala abamu tebamanyi kweyonja. Kale okoze bulungi okubuuza ekibuuzo kino.

Abakyala abasinga bakozesa ssabbuuni naye kya bulabe. Nga weeyonja, olina okukozesa amazzi amayonjo ate ssabbuuni mwerabire. Okukozesa ssabbuuni mu bukyala kiringa okukozesa ssabbuuni mu kamwa.

Fenna tukimanyi nti obukyala bwakula ng’omumwa era n’omutwe gw’obusajja bwe gwakula. Akasusu ak’obukyala n’omumwa oba omutwe gw’obusajja kaweweevu. Ate mu butonde obukyala bwenaaza bwokka era n’omutwe gw’obusajja nagwo gwenaaza gwokka. Teweetaaga kukozesa ssabbuuni.

Era bakyala abatera okukozesa ssabbuuni batera okulumizibwa kandida. Kale kimanye nti ssabbuuni wa bulabe mu bukyala. Ekirala, bw’oba weesokoola enseke ne zikuluma olabika olina obulwadde obulala naye nga tebuva ku kunaaba.

Kubanga mu butuufu engalo ng’onaaba tegenda wala wadde ku mumwa gwa nnabaana. N’ekirala abasajja batono abasobola okuleeta obulumi mu bakyala mu kwegatta okuggyako ng’omusajja muwanvu ddala.

Kale mwana wange, oba enseke zikuluma genda mu ddwaaliro naye okunaaba tekuleeta bulumi. Ekirala okuyonja obukyala tolina kufuba nnyo kubanga obukyala bwenaaza wabula okendeeza ku mazzi ago agooza obukyala ate tegawunya.