Neevuma ekyanzigya mu ssomero ne ηηenda mu bufumbo okubonaabona

NZE Juliet Namuli mbeera Kasangati ku lw’e Gayaza. Omusajja yasooka kubeera mukwano gwange nga tubeera ku kyalo kye kimu e Nangabo.

NZE Juliet Namuli mbeera Kasangati ku lw’e Gayaza. Omusajja yasooka kubeera mukwano gwange nga tubeera ku kyalo kye kimu e Nangabo.

Yali muzimbi ate nze nga mbeera ne bazadde bange. Mu kiseera we namulabira nnali mu S4 era yambuuliranga ebintu bingi ekyandeetera okumwesiga.

Yatandiikiriza mpola okunteekamu endowooza y’omukwano era okukkakkana ng’afuuse muganzi wange.

Newankubadde nnali nkyasoma, twayagalana n’omusajja ono era ekyava mu mukwano guno lwali lubuto ekyampisa obubi kuba nnali ndabira ddala ng’ebyange bikomye.

Omusajja yaηηumya era n’ankakasa nga bwe yali agenda okumpa obuyambi bwonna bwe nneetaaga n’ansuubiza n’okunzizaayo okusoma.

Eky’okufuna olubuto bazadde bange kyabakuba wala ne batuukirira abadukanya essomero ne bakkaanya nsigale nga nsoma nsobole okutuula ebibuuzo byange ebya S4 ne bakkiriza.

Waayitawo akaseera katono omusajja n’ansaba tusenguke ku kyalo tudde mu kitundu ekirala gye batatumanyi naye ne sibifaako.

Lumu ηηenda okuva ku ssomero okudda awaka nasanga asenguse ku kyalo. Yagaana okumbuulira gy’ali kyokka nga ne bwe mmukubira essimu yeebuzaabuza.

Ekiseera kyatuuka nga sikyasobola kugenda ku ssomero kuba olubuto lwali lukulidde ddala era naddayo kukola bibuuzo.

Nabonaabona n’olubuto ng’omusajja talina kyannyamba era byonna bye yansuubiza byakoma awo okutuusa bwe nnazaala.

Kati omwana awezezza emyaka musanvu naye omusajja talina ky’annyamba wadde okuwa omwana obuyambi oba okumuweerera.

Kati namwesonyiwa era nasigaza kwekolera byange na kulabirira mwana wange.