By'olina okukola okunyumirwa akaboozi mu biseera eby'ebbugumu

By'olina okukola okunyumirwa akaboozi mu biseera eby'ebbugumu

ABADDE anoonya omwana ng’abuze teweevuma kyeya oba musana kuba guno gwe mukisa gwennyini gw’olina okukozesa Katonda okukwanukula essaala zo.

Naawe atanoonya mwana, munno tomwesulubabba olw’ebbugumu eririwo ennaku zino olw’omusana ogwememula. Waliwo ebintu bye musobola okukola mwattu ne muyesa empiki ne zinyumira ddala.

Abakugu mu nsonga z’ekikyala bagamba nti ku ludda lw’omukazi, ebbugumu eringi limwongera emikisa gy’okufuna olubuto nga n’omusajja limwongeza emikisa gy’okufunyisa omukazi olubuto olw’enkwaso okweyongera mu kiseera kino.

ENGERI EBBUGUMU GYE LYONGERA EMIKISA GY’OKUZAALA

Dr. Abdala Muhofa omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago agamba nti omusana bwe guba omungi, omusaayi gubeera gutambula nnyo ate mangu.

Kino kivaako amagi okukolebwa mu bungi okusinga mu mbeera eya bulijjo era gakula mangu. Amagi okukula amangu mu bungi kyongera emikisa gy’omukyala okufuna olubuto kuba enkwaso z’omusajja tezikaluubirirwa kuyingira ate ne bwe zituuka munda zisanga likuze bulungi ekiryanguyiza okutonda omwana.

 

Dr. Matthias Makumbi akolera Vine Paramedical School e Makasa akkaatiriza nti okuva mu 2012 okutuusa 2015 abakugu mu Amerika baakola okunoonyereza ne bakizuula nti ebbugumu eringi mu mubiri lyongeza obwagazi.

Makumbi agamba nti mu basajja bw’aba ng’abadde alya bulungi nga takosebwa musana ebbugumu lyongera enkwaso mu mubiri ate ng’enkwaso gye zikoma okubeera ennyingi gy’emikisa gyazo okusobola okuyingira oba okugimusa eggi eribeera ly’akuze edda.

Makumbi agamba nti ku ludda lw’abakyala ebbugumu liyamba okukola obusimu obuyamba okukola n’okukuza amagi amangi ekyongera emikisa gy’okufuna olubuto olw’okubeera n’amagi agawerako kyokka nga gakula mu kiseera ekitali kya bulijjo.

Kyokka Dr. Mark Muyingo omukugu ku nsonga z’abakyala e Mulago ayawukana ne banne ng’agamba nti mu biseera by’omusana abantu bangi batera okubeera ne situleesi naddala abo abatera okukolera mu musana.

“Akaboozi kafugibwa bwongo era ssinga oli abeera yakoledde mu musana guyinza okukosa obwongo kuba ne bw’adda awaka asangayo ebbugumu ekivaako obwongo okulwawo okuzuukusa obusimu bw’omukwano obusinga, ekikendeeza emikisa gy’omukyala okufuna olubuto olw’obwagazi obutono.” Muyingo agattako nti, ebbugumu eringi mu bamu likendeeza obwagazi olw’okutuuyana naddala ssinga abaagalana tebaba bayonjo bulungi ng’era kino kikendeereza ddala emikisa gy’omukyala okufuna olubuto.

Dr. Muhofa agamba nti oluusi omusana bwe gwememula abantu abamu eby’okukola babiwummuza, ekireetera omubiri okuwummula. Kino oluusi kiyambako okwongera ku mikisa gy’abakazi okufuna embuto kubanga obwagazi baba na bungi.

Muhofa abuulirira abanoonya abaana okutandika okupimanga ebbugumu mu bakyala baabwe, era bw’osanga ng’alina ttono manya nti emikisa gye okufuna olubuto giba mitono ddala.

Wabula ssinga omusanga abuguma nnyo okwawukanako n’ebbugumu lya bulijjo naddala mu bisambi awo manya nti emikisa gy’okufuna olubuto giri waggulu kuba eggi liba likuze era abeera n’obwagazi bungi.

 

EBBUGUMU ERINGI LIKENDEEZA AMAZZI G’EKYAMA?

Dr. Makumbi kino akiwakanya ng’agamba nti amazzi g’ekyama galina obusimu obugakola, era obusimu buno bwe busalawo ddi lwe gajja okusinziira ku mbeera ebaawo.

Obwongo, emyaka, eddagala ly’ekizaalaggumba, bye bimu ku bikosa obusimu obukola ku nsulo y’amazzi gano ne gajja matono oba mangi.

Ebbugumu eringi oluusi likendeeza obwagazi naddala ssinga omukyala abeera atuuyana. Ate bw’aba yakoledde oba nga yatambudde mu musana obwongo bwe bulwawo okuzuukusa obusimu bw’omukwano, ekiremesa ttaapu okusumulukuka obulungi.

Ate Edith Mukisa, omukugu mu kubudaabuda abantu agamba nti obuzibu businga kuva ku bbugumu eribeera mu nnyumba, nga lino livaako abamu obutayagala kwesemberera nnyo olw’ebbugumu kuba abamu batuuyana nnyo, ekivaako omu okukyawa eby’okwegatta. Kino kiva ku bwongo okulemererwa okusumulukuka obulungi obusimu omuli n’obw’amazzi ekivaako ensulo obutasumulukuka bulungi, amazzi ne gajja matono.

Wabula ku nsonga eno Dr. Muhofa agamba nti waliwo ensanjabavu ezikola ku mazzi gano ng’era zino ssinga zifuna ebizibu ebitali bimu omuli eddagala, situleesi oba ebirowoozo ziyinza obutaleeta bulungi mazzi ga kyama.

ABAAGALANA BYE BALINA OKUKOLA MU BBUGUMU

1 Dr. Makumbi abuulirira abasajja okwewala okwambala empale ezisika oba ezikuuma ebbugumu nga jjiini n’ezo ezibakwata ennyo kuba zikuuma ebbugumu mu bitundu by’ekyama ekiyinza okubikosa, naddala entula ezitereka enkwaso.

2 Abaagalana balina okunaaba buli lunaku naddala akawungeezi nga bagenda okwebaka okwewala okwebaka nga balina ebbugumu.

3 Abaami n’abakyala basaanye okwambala obuwale obwa ppamba kuba buyamba okuyisa empewo ate nga bunywa mangu entuuyo ssinga obeera otuuyanye ne kikuyamba obutavaamu kasu konna.

4 Ekirala abaagalana basaanye bakuume obuyonjo nga bakyusa amasuuka gaabwe buli luvannyuma lw’ennaku nga ssatu.

5 Balina okwettanira okunywa amazzi mu lunaku okusobola okukuuma emibiri gyabwe nga girina amazzi agamala, ssaakookulya ebibala kuba biyamba omubiri okweddaabiriza.

6 Balina okwettanira okunaaba amazzi agannyogoga kuba gayamba okugoba ebbugumu. Gano mulina okuganaaba nga temunneegatta, emibiri gyammwe obutabeera na ntuuyo.

 

Era n’oluvannyuma lw’okwegatta kyandibadde kirungi ne munaaba okwewala okusula n’ebbugumu.

7Omukyala kirungi obeere n’enkumbi eziwera omuli erongoosa munno oluvannyuma lw’akazannyo, ssaako emusiimuulako entuuyo ku mibiri wakati mu nsiitaano.

8 Mpozzi ekirala, ebbugumu linafuya omubiri noolwekyo tekiba kirungi kulya mmere nzito naddala nga mugenda okwesanyusa. Era olina kulya mu bipimo ebitono ddala.

Kirungi olye emmere ennyangu nga obummonde, omuceere, enva endiirwa. Jjukira nti buli lw’olya ennyo n’okkuta ekivaamu kuzitowa nga tosobola kukakkalabya bulungi emirimu gy’ekisenge.

9 Mwambale engoye eza ppamba naddala nga muli mu kisenge. Obugoye bw’omu kisenge oba nayiti zitera okukwasa ebbugumu naddala bwe zitaba za ppamba.

Noolwekyo mu kiseera kino, fuba okulaba nga bw’oba wakwambala nayiti, yambala eya ppamba, ate bwe kiba kisoboka nayiti muzeesonyiwe mu biseera bino.

10 Ensusu temuzisuulirira. Ebbugumu lirina engeri gye likazaamu olususu. Kino kitegeeza nti bw’omala okunaaba kirungi ne weeyisaako akazigo akaweweera obulungi, oleme kukalabula munno. Ekirala emimwa nagyo gikuume nga muweweevu kuba oluusi omusana gugikaza.