Nnyimba ddi?

Ssenga, ntandika ntya okuyimba?

Ssenga, ntandika ntya okuyimba nga ndi n’omwagalwa wange mu buliri?

  Mwana wange okuyimba tekuliiko kutandika kubanga kye kintu kyokola nga kya kyeyagalire okusinziira ku mbeera gy’owulira nga wegata.

Abakyala era n’abawala abasinga balowooza nti olina okuyimba nga mwegata nti tteeka era buli mukyala alina okikola.

Ekirala abasinga balowooza nti abakyala be balina okuyimba abasajja tebalina kuyimba.

Okuyimba ge maloboozi oba ebigamabo ebyogerwa nga mwegata.

Bino obikola okusiima munno omuzzaamu amanyi era n’omumanyisa nti kyakola kikusanyusa.

Nsuubira nti nga tonaba nakwegatta osobola okutandika okusiima munno.

Kale mwana wange embeera enno oli wa ddembe okwogera , okuyimba, oba okufulumya amaloboozi g’oyagala okusinziira ku ky’owulira.

Ate bw’ofulumya amaloboozi ne munno asobola okufulumya okusinzira ku kyafuna. Mpozzi waliwo embeera nga mulina okwefuga.

Katugamabe muli mu kifo nga temwagala abalala bamanye kye muliko. Mulina okufuga amaloboozi gammwe anti okwegatta kwa kyama.