Amazzi amangi gaba gatya?

Okubeera n’amazzi amangi mu bukazi kiba kibi?

Okubeera n’amazzi amangi mu bukazi kiba kibi mu kaboozi k’ekikulu?  

Mwana wange nedda. Abakyala bonna balina obusoboozi okufuna amazzi naye abamu balina mangi ate abalala matono naye nga gamala.

Ekirala singa obeera mu mukwano nga oyagala munno nga naye akwagala, n’akunoonya bulungi ate n’akusanyusa nga mwegatta obeera n’amazzi mangi.

Mpozzi bw’obeera n’ammazzi nga mangi ddala era olina okuyiga okweyonja era n’okuyonja obuliri nga mwegatta era nga mumaze.

Abasajja abasinga baagala amazzi kubanga kiraga nti omukyala afunye obwagazi, kiraga nti omusajja asobodde omusanyusa, kiraga nti omusajja akoze obuvunayizibwa n’amunoonya bulungi.

Ate kansuubire  otegeeza mazzi kubanga abakyala abamu bafuka omusulo nga balimba abasajja nti balina amazzi mangi.

Amazzi agobwagazi galinga minyira tegalinga mazzi ga bulijjo oba omusulo. Ate tegawunya.