Baze yafumbiza omwana waffe

Abasawo bagamba nti emikisa gy’omwana wange okuzaala mitono ddala kuba yayonooneka n’amagumba gaakosebwa.

 Nabatanzi

ESSANYU ly’omuzadde kuzaala mwana ate bwe kituuka ku w’obuwala kiyitirira naddala ng’akuze n’atuuka ku kkula ly’obufumbo.

Naye teebeereza omwana wo abantu ab’emitima egy’ekitujju okumufumbiza mu pulayimale!

Bandibaddeko abantu be ssimanyi naye baze ne muka kitaawe be baatuusa muwala wange eyasooka ku kibambulira kino.

Nze Jane Nabatanzi nga nkola gwa bulimi ku kyalo Kulubbi -Katosi mu disitulikiti y’e Mukono.

Nga nkyali muwala muto, nafunayo munnange e Masajja bwe twasiimagana ne twutandika omukwano ogw’ekimemmette era Mukama n’atuwa n’ekirabo ky’omwana omuwala.

Ono yali mwana wange ow’obuvubuka wadde ye munnange, yalinayo abaana be abakulu nga yayawukana ne nnyabwe olw’ensonga ezitali zimu.

Bwe yampitiramu ne nsalawo okumwagala tutandike obulamu obupya. Munnange yakyuka era buli omu n’atandika okubeera yekka naye ne nsigaza omwana wange.

Ekyewuunyisa ye baze okwekobaana ne mulamu wange Kayondo ne banzibako omwana wange nga wa myaka esatu mu 2004 ekintu ekyampisa obubi ddala.

Naloopa eky’okubula kw’omwana wange ku poliisi y’e Katwe n’e Katosi gye nali nzize wabula ne siyambibwa engeri omwana gye yali atwaliddwa e Kayunga ate nga nange nzize e Katosi okuyiiya obulamu.

Kitaawe bwe yamutuusa, yamutwala wa jjajja we omusajja e Bunyumya-Kayunga era saddamu kubawuliza okutuusa wano jjo ly’abalamu taata we lw’ankubidde essimu ng’andagira okunona muwala wange mu ka tawuni e Kayunga bwe mba nkyayagala okumusanga nga mulamu.

Nasitukiramu kyokka ηηenda okumukubako amaaso nga tasobola wadde okutambula obulungi. Namutuusiza mu ddwaaliro e Katosi gye yeekebejjebwa ne kizuulibwa nti abadde akuluusanyizibwa okumala ebbanga.

Nga tuzze awaka, namuteeka ku nninga n’antegeeza nga jjajja mukyala (atazaala kitaawe) bwe yamufumbiza ew’omusomesa we n’atandika okumukozesa mu nsonga z’abafumbo ne bamugaana okubuulirako omuntu yenna nga bamutiisa okumusindikira amayembe okumunywamu omusaayi afe.

Buli lwe yasabanga ebyetaago by’essomero n’awaka nga bamulagiriza okugenda ewomusomesa ku mpaka era olw’obuto yali talina kyakukola kuba buli lwe yagaananga nga bamuloopa ewa kitaawe eyamutiisanga okumutta.

Yalaba kimuyitiriddeko n’ajeema okudda ew’omusomesa era kitaawe kwe kunkubira essimu munone.

Ebyo byonna byandibadde awo wabula kitaawe bwe namugamba ku nsonga zino yayomba n’aggyako n’essimu ekyandeetera okulowooza nga bwe yali amanyi ku lukwe luno era balya butaala ku kyalo.

Abasawo bagamba nti emikisa gy’omwana wange okuzaala mitono ddala kuba yayonooneka n’amagumba gaakosebwa.

Omwana kati wa myaka 13 naye tasobola kusitula kintu kizitowa wadde okukola emirimu egy’amaanyi.

Nsaba poliisi, ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abaana n’abakyala okunnyamba bakwate abaafumbiza omwana wange kuba yeetaaga okubuulirira n’obujjanjabi ate sirina ssente. Kuba ku ssimu 0702 501 890.