Nnemeddwa okufuna omukazi annywererako

Obutawulira wamu n’obwavu bwannemesa okuwasa. Nze simanyi oba Mukama awulira essaala zange, naye yandimponyeza olube abatuuze lwe bankuba nti sisobola mukazi kuba buli ajja ng’agenda.

 Isa Bisabo

Kale mu buto nagenda ne ndwala omusujja era ne gunziba amatu naye nga nsobola okWogera wamu n’okusoma emimwa gy’omuntu ng’ayogera. Nze Isa Bisabo, nnina emyaka 28.

Mbeera Luweero mu Kikubo Zooni. Nnina obuzibu mu mukwano oba kahhambe nti sinnafuna mukisa mu bakazi kubanga naakawasa abakazi babiri naye nga bonna bagenda sitegedde kibatuute.

Olwatuuka nga mpasa omukyala wange gwe nnali mmaze ebbanga nga neegomba.

Mu kusooka twali mu mbeera nnungi era nga buli muntu atwegomba. Nnali sikkiriza mukazi wange kugenda mu nnimiro era nga muleka yeebase ne hhenda nnima.

Nakomangawo nga buli kimu kiri bulungi era ng’annyaniriza mu ssanyu ne kacaayi n’akampa.

Namugulira nga buli kye yali ayagala wadde ng’oluusi nalwanga wo olw’ebbula ly’ensimbi, yansuubizanga obutanvaamu era nange ne hhuma.

Kale saalowooza nti omukyala ono ankongooza bigere. Akaseera kaatuuka mukyala wange n’akyuka ng’awaka takyabeerawo abeera mu mikwano gye, nga bakola lugambo.

Munnange eyo gye yaggya emize n’atandika obutakyanfaako wamu n’okunvuma nga bw’annangira obwavu n’obutawulira.

Nasooka ne ndowooza nti osanga olubuto lwe lumunkyayizza wabula hhenda okwekkaanya nga talina lubuto era n’ankakasa nti tayinza kunzaalira.

Bino byampisa bubi era wano we nnamanyira nti alinayo omusajja omulala.

Bwe yakimanya nti muguddemu n’asiba ebinye, n’agenda. Nnamala ekiseera nga ndi muwuulu wabula oluvannyuma ne nfunayo omukazi omulala.

Wabula naye yanneefuulira nga tandabirira. Yatandika obutampa mmere n’akola n’ebirala bingi okunnumya.

Yalaba simufaako kwe kusibamu ebibye n’agenda. Simanyi oba ndiddamu okufuna omukazi omulala, ate nsaba Katonda bwemba nfunye andeetere anaagumiikiriza embeera yange.