Abasajja mweggyeemu omuze gw'okuzira akaboozi

Abasajja mweggyeemu omuze gw'okuzira akaboozi

Abaagalana nga bafunye obutakkaanya mu kisenge

Abasajja abalina akasunguyira, kino kyammwe. Ne bw'onyiiga okutuuka ku kisembayo, bw'otuuka mu buliri obusungu busibe ku bbali omekete akaboozi. Kubanga ensonga y'okuzira akaboozi y'emu ku ezo ne kkooti z'ewuliriza nga wabaddewo omu ku bafumbo asaba okwawukana ne munne.

Eddiini yo tegattulula, kubanga akaboozi y'entabiro y'obufumbo bwonna. Kye bava bakayita "kissa obusungu." Kubanga ne bwe muba nga mwayombye ne mukomayo, naye bw'otuuka mu kitanda n'okwata ku kaboozi mwembi mukkakkana. Kubanga muba muwewedde, kye kava katera okuggweera mu mbeera ya mwembi okwebaka ne muzuukuka nga buli omu kitonde kiggya.

Kale abasajja abalina enkola ey'okuziraazira mwegendereze. Buli musajja lw'anyiiga n'azira emmere, n'azira okwogera; yenna n'azimbira awaka n'aba ng'obudde; byonna ebyo byongera kusenda bakyala bammwe kubeesamba nga nnasswi bwe yeesamba engalabi.

Ate nno abamu mutuuka n'okusibira abakyala ebweru nga mwekwasa okuba nti batambudde ne balwayo. Munnange nno oyinza okumusibira ebweru nga bw'omulangira addeyo gy'ava nga yayagala dda okusulako mu kifuba ky'omusajja omulala; era naye n'atambulirawo.

Ate ne kijja kiba ng'omusajja oyo asamba ekyeso okukusinga! Ogenda okumugamba akomewo, nga takyakulabawo. Ne bwe mugatta ekitanda, nga ye omutima gwonna oli yagubba dda!Laba bw'otandika okukaaba ebya "Nnesse nzekka...!"

Noolwekyo abasajja abalina enkola eno ey'akasunguyira mwetunulemu.