Lwaki sikkuta kaboozi?

LWAKI simatira kaboozi? Nnina kizibu ki? Buli lwe nneegatta ne mukyala wange nsigala simatidde kaboozi ate nga mba ntuuse ku ntikko mba nnaakamalamu akagoba ate nga mpulira nkyayagala.

BW’OBA muvubuka ate nga ne munno omwagala bulungi, embeera gy’olimu si mbi.

Naye bw’oba olina by’okozesa oba ebiragalalagala oluusi bireeta embeera eno.

Naye obwagazi obungi ng’oli muvubuka ate nga bwa butonde buleeta embeera eno.

Naye bw’ogenda okula, embeera eno ekyuka nga n’okwegatta emirundi ebiri mu wiiki tosobola.

Nsuubira ne mukyala wo akyali muto nga naye obwagazi alina bungi. Kale okukuddamu, okwegatta tekulina buzibu.

Naye newankubadde olina obwagazi obungi bwe butyo, olina okubufuga n’okufuga obwongo bwo anti bwe bufuga obwagazi.

Bw’oteeka ebirowoozo mu bwongo ng’oyagala kwegatta buli kiseera era ky’ofuna. Kubanga ne munno ayinza okukoowa ssinga teweefuga.