Ssenga, njagala ddagala erigezza obusajja

Nnina obusajja butono naye nnyamba onfunire ku ddagala eriyinza okubugezza.

OKUSOOKERA ddala, sirowooza nti waliyo alina eddagala erisobola okugezza obusajja. Okugezza obusajja olina kulongoosebwa ate ng’ogenze Bulaaya.

N’ekirala, newankubadde abantu bangi balowooza nti okukyusa sayizi y’obusajja kyangu naye si kyangu.

Ate basajja abamu balowooza nti balina obusajja butono naye nga ddala abalina sayizi entuufu.

Bw’ogamba nti obusajja butono tosobola kwegatta na mukyala oba owulira nga bw’obeera mu mukyala tomuwulira bulungi? Sayizi oluusi teba kikulu wabula enkozesa y’obusajja.

Embeera ya sayizi ereese obuzibu mu basajja bangi naye ate nga tekyandibadde kizibu. Nkubira ku ssimu, 0772458823 twogere.

Sayizi gy’ogamba eyinza okuba ng’emala bulungi. Sigaanyi abakyala abamu baagala sayizi ng’emala naye ate ne sayizi esusse obunene abakyala tebagyagala.