Eyanfunyisa olubuto yandabya ennaku

Nze Oliver Nayiga, 22, mbeera Mpererwe. Gye buvuddeko, waliwo omusajja eyankwana n’ammatiza okukkakkana nga twagalanye.

Omusajja ono yali akola mu kibanda kya firimu e Gangu ku lw’e Busaabala gye nali mbeera.

Twamala ekiseera kitono n’anfunyisa olubuto. Nayisibwa bubi kuba nali nkyabeera mu bazadde bange ng’omusajja abeera wuwe ate nga eby’okusoma nali nabivaako olw’okubulwa ssente ezinyongerayo.

Bwe nnamugamba nga bwe nnali nfunye olubuto, yasooka nandaga nti takirinaamu buzibu wabula bwe waayitawo akaseera, yanneefuulira n’atandika okweyisa nga bw’alaba.

Omusajja ono gye nnakoma okumwagala, gye yakoma okundabya ennaku nga tayagala wadde okuneesembereza.

Embeera y’olubuto yali nzibu kuba nnali ndwalirira buli kiseera, kyokka nga tewali kyampa wadde ssente z’obujjanjabi.

Nakaluubirizibwa naye ng’omusajja tanfaako okutuusa olubuto bwe lwavaamu olw’obutafuna bujanjabi.

Bwe nawona obulwadde nasalawo okwesonyiwa omusajja ono ne ntandika obulamu obupya kuba nnali mmaze okutegeera ky’ali. Kati nasigaza kwekolera mirimu gyange na kunoonya ssente.