Olusirika ndukole ntya? Mpulira mbikooye!

Mukazi wange yagenda mu lusirika kati emyezi esatu. Kyokka bwe mubuuza ekyamunyiiza aηηamba tewali ate nga mwagala nnyo naye aηηamba nti anjagala. Emirimu gy’awaka gyonna agikola okuggyako ensonga z’omu kisenge ate saagala kubaliga. Nkole ntya? Nze Paul K Zzana.

Mwana wange lwaki okkiriza olusirika luno? Omanyi nti lutta amaka mangi, funa obudde omubuuze lwaki yeeyisa bw’ati.

N’ekirala mugambe nti oyisibwa bubi okuba mu mbeera eno. Oli musajja mufumbo era olina okwegatta ne mukyalawo okuggyako nga mulwadde.

Oba akugamba nti tewali nsonga olina okugenda mu bazadde naddala ssenga we ayogere naye.