Ebbaluwa ya Ssenga: Omuze gw'okumma abagenyi ebyokulya waguggya wa?

KITUUFU abagenyi bwe bakyala ewuwo tojjula mmere era oluusi emmere mugiriira mu kisenge n‛abaana bo. Ate ng‛omusajja emmere agigula.

Baηηambye nti n‛abazadde b‛omwami toyagala kubafumbira mmere waakiri banywa caayi yekka ne beebaka.

Mwana wange simanyi gye wafunira empisa ezo kubanga okimanyi bulungi nti abantu bangi abaakyalanga mu maka ga kitaawo naye nga nnyoko tava mu ntamu ate ng‛ayaniriza abagenyi.

Ye abange omuze ogw‛okuliira mu kisenge waguggya wa? Ate n‛abaana n‛obasigamu empisa embi nga tebalina kulya na bantu.

Mwana wange okusookera ddala, buli mukyala omufumbo alina obuvunaanyizibwa okwaniriza bantu abakyala mu maka. Obaaniriza ekitegeeza nti olina okubawa ekyokulya oba okunywa.

Ate ggwe mwana wange weesiimye oli ku kibuga naye omwami waffe buli kintu akigula. Kati bw‛otogaba kw‛ebyo by‛olina naddala emmere gwe onoofuna ddi era Mukama anaakuddiza ddi.?

Okugaba kirungi kubanga abo b‛owa akokulya bakusabira emikisa era n‛oyongera okufuna.

N‛ekirala okukyaza abagenyi ate n‛obasanyukira nakyo kirungi anti amakago gongera okufuna emikisa.

Ate nkwewuunyizza nti abaana baffe okola nabo emize egyo. Mwana wange abaana balabira ku ffe abakulu.

Ky‛okola nga nabo bakukoppa kati emize egyo giraga nti ffe abazadde twakukuza bubi, ekitali kituufu. Olina okwaniriza abagenyi, olina okubawa ekyokulya oba ekyokunywa, ne bwe gaba mazzi.