Omuwala omwenzi tayagalika

Nze Emma Kalyesubula nnina emyaka 22, mbeera Miseebe -Mityana. Nnali naakaweza emyaka 20 ne nnegomba omuwala gwe nnayagala okuzaama era nga nnina n’essuubi ly’okumuwasa.

Ekyasinga okummalamu amaanyi mu kiseera kye nnali nneewadde okumwetegerereezaamu, omuwala ono ate mwe yankolera ekintu ekyamunkyayisa ne mmukoowa.

Twatuuka ne tuteekateeka okisisinkana mu kifo ekimu we twateranga okusisinkana era twateesa essaawa ze twalina okutuukirawo.

Wano nze namusookawo ne mulinda. Namulindira ebbanga nga tajja kwe kusalawo okutambula mpolampola nga nzira ku ludda lwe yali alina okuyitako.

Kyokka ekyammala enviiri ku mutwe kwe kumusanga ng'ali n'omusajja omulala nga bayimiridde ku mabbali g'ekkubo.

Nasalawo okubayitako nga nneefudde atabalabye era wano n'omuwala yeefuula atandabye era teyannyega.

Enkeera omuwala yankubira essimu ne nsooka hhaana okugikwata kyokka bwe nnalaba ng'agiremeddeko kwe kugikwata.

Bwe twali twogera yasalawo okunnetondera naye engeri gye kyali nti yali amaze okundaga emize gy'obwenzi nange nasalawo okumwesonyiyira ddala.

Okuva olwo ne twawukana era kati ne bwagezaako okunkubira essimu sikyagikwata kuba namwesonyiwa.