Bukodyo ki obunyumisa ekigwo?

Ssenga mpaayo obukodyo butaano obw’okwegatta.

Ssenga mpaayo obukodyo butaano obw'okwegatta. Bukodyo ki bwe nnyinza okukola ne tunyumirwa okwegatta?
 
Okusookera ddala nga sinnaba kukuwa bukodyo ng'ogenda okwegatta, okufuna essanyu olina okwegatta n'omuntu ng' omwagala ate nga naye akwagala.
Ne bw'okola obukodyo obufaanana butya nga tewali mukwano otawaanira bwereere.
 
Ekirala mwana wange olina okuyiga omubiri gw'omukyala oba omubiri gw'omusajja. Omukyala afuna atya obwagazi oba omusajja afuna atya obwagazi? Tukimanyi
nti omusajja kyangu okufuna obwagazi ate omukyala ebiseera ebisinga alina okufuna obwagazi ng'omusajja amunoonyezza.
 
Nsuubira obukodyo obusooka obutegedde bulungi. Nga tuvudde awo mwana wange olina okuyiga munno, ddala omwagalwa wange kiki ekimusanyusa?
 
Kiki kye nnina okukola n'afuna obwagazi obungi, kubanga buli musajja oba omukazi
alina ebimusanyusa.
 
Ekirala weebuuze sitayiro ki emutuusa ku ntikko, sitayiro weeziri nnyingi naye ddala eruwa emutuuka obulungi. Zonna muyinza okuzigezaako ne mulaba esinga
okubanyumisiza akapiira oba munno z'ayagala.
 
Manya nti abasajja bangu okumala naye abakyala olina okubafaako. Ekisembayo manya ebintu ng'obuyonjo, okuyimba n'ebirala ng'ebyo ebyongera ebirungo mu kwegatta.