Simanyi oba nga naasobola okuzaala

Ssenga nnina emyaka 20 naye mmala mangu. Maze emyaka ebiri nga neegatta naye kigaanyi. Twegatta emirundi ebiri mu mwezi kubanga nkolera wala. Nkoze ntya ku nsonga eno kuba simanyi oba naasobola okuzaala ate n’amaanyi ndowooza nti gagenda gaggwaamu.

Mwana wange endowooza gy'olina y'ekuleetedde obuzibu buno. Kubanga ku myaka gy'olina era olina kumala mangu.

Obwagazi obeera na bungi kyokka olwawo okwegatta ne munno. Mu butonde, omuvubuka yenna alina okumala amangu kubanga obwagazi bubeera bungi buli kiseera.

Teweeteekako kizibu, osobola okuzaala obulungi okuggyako ng'amagi go ge galina obuzibu.

Okumala amangu tekugaana musajja kuzaala. Abasajja n'abakyala abasinga tebamanyi nti obwongo kye kitundu ekisinga obukulu mu kwegatta.

Singa mu bwongo oteekamu ebirowoozo nti tolina maanyi ga kisajja era tobeera nago. Abasajja bangi be beeretedde embeera eno.

Abamu babalimba mbu babawa eddagala ly'amaanyi g'ekisajja. Mwana wange oli mulamu bulungi era tolina kizibu n'akamu.

Embeera gy'olimu ya butonde kuba okyali muvubuka naye bw'onookula ogenda ku