Mukwano gwange yansigulako omuwala

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange ennyo eyeegwanyiza mukyala wange n’atuuka n’okutwawula.

Twasisinkana ne mukyala wange emyaka ebiri emabega ng'akyasoma kyokka gwe nali nkozesa nga katumwa yali mukwano gwange.

Mukwano gwange ono namwesiga nnyo era omuwala bwe yabanga n'ekizibu nga kiri wakati wange naye ng'amukubira essimu n'amuwa ku magezi.

Wabula oluvannyuma ate mukwano gwange ono yatandika okukwana mukyala wange nga buli kiseera asiiba amukubira amasimu.

Omuwala yasooka n'asirika wabula yalaba kimususseeko, kwe kuntegeeza nti mukwano gwange yali amulemeddeko ng'amutegeeza kimu nti beeyagale mu kyama.

Ebigambo bino byankuba wala ne mbisirikira wabula era ne nkiwa obudde naye omulenzi yasigala alemedde ku nsonga.

Waliwo lwe nasanga omuwala ng'agenda ewa mukwano gwange amuyambeko okumukolera ebbaluwa esaba omulimu nakyo ne kinkuba wala.

Mukwano gwange bwe yakitegeera nti mmuguddemu, ensonyi yazifuula busungu n'essimu yange ‘n'agibulookinga.'

Nange kye nakola kwe kumwesalako era ne bwe mmusanga tetwogera kyokka n'omuwala gwe yansigulako takyali naye.

Ndabula bavubuka bannange n'abaagalana bonna obuteesiga mikwano gyammwe mu nsonga z'omukwano kubanga abasinga babeera n'ebigendererwa birala.