Siisiri w'abakazi bamukubyemu ttooci

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna ng’enkasi emuyingidde mu bbakuli.

 Bano baabadde ku Theatre Labonita gye buvuddeko.

ABAKUGU bazudde ng'abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw'afuna ng'enkasi emuyingidde mu bbakuli.
 
Nti era obwagazi gye bukoma okugenda nga bulinnya, ne sipiidi kw'ayimbira siisiri
gy'ekoma okweyongera era ng'ali mu ddoboozi lya sitiiriyo.
 
Bano abekkama obwekkami nga muli e Namboole oluusi nga n'abamu oluyimba lw'eggwanga baluyimbira mu bbeesi, baba ‘ffeeke'.
 
Bino bye biri mu kunoonyereza okwakoleddwa Polof. Barry Komisaruk kwe yaafulumizza mu kitabo kye "The Science of Orgasm" oba mu Luganda, "Ebikusike mu kuteeba ggoolo y'akaboozi".
 
Omukugu ono eyakoledde wamu ne yunivasite ye Nebraska Omaha era yazudde nga sipiidi omusajja kw'ayingirira ebbakuli, y'evaako ekika kya sisiri omukazi gy'afulumya.
 
Kubanga amawuggwe ge gaba gafulumya omukka ogugayingiramu okusinziira ku
sipiidi omukazi kwaba azannyira omuzannyo guno ogulinga ogwa "kibugga tonkutulakutula..." Okugeza omusajja bw'aba akoonye awo awaleeta omukazi
okufuna obwagazi obungi (ku kakukufa) sipiidi ne sitiiriyo ya siisiri yeeyongera.
 
Baazudde era nga omusajja gwe bayimbidde siisiri enkasi ye yeeyongerako okwereega ebitundu 30 ku 100. Kwe kugamba bwaba nga yandimaze eddakiika
emu amala nnya ng'akyatabaaza ensimu.
 
Naye omusajja bw'aba tamanyi ntambuza ya nsonga ng'ali mu Kampala - Masaka, nga n'omukazi adda mu kukema ng'omulwadde omuyi, mu kifo ky'okuyimba siisiri omutuufu.
 
Wano we balabulira nti si kirungi omukazi okuzibikira amaloboozi agamuvaamu nga bali mu kisaawe; kubanga amawuggwe ge gaba tegeetaaya bulungi. Kale mwe abalya ebintu nga mutuyidde temwagala bali wabweru bawulire, amagezi gaago gaabuwa. Ebyo mubiveeko mwete!
 
Era abakugu baazudde nti omukazi ayimbye siisiri ku sipiidi, tayinza kwekoza nti amazeemu akagoba nga takamazeemu.
 
Kubanga naye aba afunye obwagazi era aba tayagala nkasi ya musajja eyawukane
ne bbakuli ye essaawa eyo nga tannaweweera. Kubanga gy'akoma okufuna obwagazi
n'obutawulira nti omusajja amuli ku ddiba azitowa!
 
Naye bano abayimba siisiri empola ate nga temuli sitiiriyo be bannannyini kwekoza nti batuuse ku ntikko y'omukwano ne batandika n'okuwejjawejja omusajja atere abave kungulu bawone obuzito.
 
Kyokka era baazudde nti yadde enkabala y'enkasi y'ebanga omusingi gwa sipiidi omukazi kw'ayimbira siisiri, nti naye ate etanula abasajja enkasi ne zibeereega okukira abusaale.