Mikwano gy'omwami wange sigyagala

OMWAMI wange alina emikwano gye saagala naye agaanye okugivaako. Emikwano gino si bafumbo era basula bacakala ate banywa nnyo omwenge. Ssenga nkoze ntya ku nsonga eno?.

OLOWOOZA osobola okulondera balo emikwano gy'alina okubeera nagyo? Nze ndaba ekyo tekisoboka, ye kennyini y'alina okusalawo ku mikwano gye wadde osobola okumuwabula oba okumugambako.

Munno ayinza okuba nga yafuna obufumbo naye nga banne baasigala si bafumbo. Kino tekimugaana kusigala na mikwano gye. Ye kennyini y'alina okumanya nti mufumbo era ne yeeyisa nga mufumbo.

N'ekirala, kirungi omusajja okusigala ng'alina mikwano gye kubanga naawe wasigala ne mikwano gyo wadde nga wafumbirwa. Omwami wo y'alina okumanya nti mufumbo era alina obuvunaanyizibwa.

Kati mu bufumbo olina okubuulirira munno naye ng'okikola mu mukwano. Tomugamba nti nze saagala mikwano gyo.

Wabula mugambe nti mbadde nsaba ojjukire nti oli mufumbo ng'oli ne banno.

Omanyi abantu batali bafumbo obuvunaanyizibwa bwa njawulo. Sikugaana kubeera na banno naye jjukira nti oli mufumbo.