Gwe nnayingira naye omwaka yanziba

OMUWALA gwe nnafuna nga mulabye nga malayika ne mmulekanga ajje akyale ewange ne ntuuka n’okumulekanga mu nnyumba yakinkola.

Nze Henry Ssettuba, mbeera Nateete. Nnafuna omuwala nga mulungi lwondo era nange nnayagala ntandike omwaka omuggya 2020 nga nnina anfumbira olwo nange omwaka nguyingire n'ekyenjawulo naye kyanzigwako.

Okuleka omuwala ono mu nnyumba nnali mwesize ebitagambika kubanga yali yeegonza nga ndowooza nfunye omuntu omutuufu kumbe ngudde ku musege.

Okumanya omuwala ono yali muyaaye, buli kye namugambanga ng'akitwala nga kikulu era nga tankaayanya. Nali simanyi nti yali yeenoonyeza bibye ng'anoonya luwenda kutuukiriza biruubirirwa bye.

Olumu yajja n'amalawo wiiki bbiri n'agenda nga talina kintu kyange na kimu ky'atutte ekintu ekyayongera okunkakasa nti omuwala ono mwesimbu era agwanira awaka.

Ekyanneewuunyisa ye muwala ono okudda ate mu kifo kye yandibadde akuuma obuntubulamu yanziba bubbi ebintu byange omwali omufaliso n'engoye ate n'amala n'akola eky'obujoozi n'ankubira essimu n'ahhamba nti ye agenze.

Kino kyansigala kimbobbya omutwe nga simanyi na waakutandikira kubanga n'ewaabwe nnali simanyiiyo okuggyako okuwulira nti bamuzaala Kiboga.

Okuva omuwala oyo lwe yanziba, mpulirira ddala ekizibu okuddamu okwemanyiiza abawala b'e Kampala ate naddala nga simanyi gye bamuzaala kubanga eyanziba yandaga essomo.