Nkole ntya okwefunza?

Ssenga nina ekizibu, obukyala bwange bugazi nnyo naye nkozesezza buli ddagala naye siraba njawulo. Abantu bahhamba nti nina okulaba omusawo bannongoose. Ntya okunnongoosa naye n’amaka gafa. Omwami wange agezaako naye olaba ng’oluusi bigaana. Nkole ntya ku nsonga eno?

Ssenga nina ekizibu, obukyala bwange bugazi nnyo naye nkozesezza buli ddagala naye siraba njawulo.

Abantu bang'amba nti nina okulaba omusawo bannongoose. Ntya okunnongoosa naye n'amaka gafa. Omwami wange agezaako naye olaba ng'oluusi bigaana. Nkole ntya ku nsonga eno?
 
WADDE abantu bangi bagamba nti basobola okufunza obukyala naye kino tekisoboka naddala bwe kuba ng'okugaziwa kwava mu kuyulika ng'ozaala ate ne batakutunga bulungi.

Okufunza okusoboka kwekwo ng'ogaziyeemu katono naye si kuyulika. Kituufu balina kukutunga so si kukulongoosa nga bwe bakugamba.

Era kibeera nga bwe bakusannyalaza ng'ozadde basobole okukutunga. Tebakusannyalaza wenna, wabula ekitundu ekyo kyokka kye bagenda okutunga. Kale totya nti bya kulongoosa, wabula basannyalaza awo wokka.

N'ekirala, ndowooza omanyi lwaki wafuna embeera eno. Bw'ozaalira awaka kyangu okufuna ekizibu nga kino n'ekirala singa tonywa ddagala ng'oli lubuto kubanga mu kunywa eddagala abasawo bakubuulira oba tosobola kusindika mwana nga munene nga balina kukulongoosa. Kati bw'osindika omwana nga munene asobola okukuyuza.

Ate oluusi omwana abeera nga si munene naye mu kuzaala n'oyulika kati ne batakutunga omusawo n'akuleka bwatyo kubanga talina bisaanyizo bitunga.

Oluusi ayinza okukuyamba n'akugamba nti genda mu ddwaaliro eddene bakutunge ate oluusi asirika n'ogenda n'embeera eno omusajja y'akugamba oba gwe kennyini okwezuula ng'oli mugazi.

Genda mu ddwaaliro eddene ate olabe omusawo nga mukugu ku nsonga eno alina kubeera nga akola ku nsonga z'abakyala ezokuzaala (gynaecologist).
Nkubira essimu nkulagirire omusawo oba genda mu ddwaaliro eddene. Essimu yange eri 0772458823.