Kabula kata embeera y'omuggalo okutwawula ne mukazi wange

OMUKWANO bwe gubulamu okukkaanya gubeera muzibu era kiba kizibu omukwano bwegutyo okuwangaala. Nze Abas Mwebe, mbeera Kabowa mu Lubaga. Bwe nnanoonya omukwano, omwagalwa namusanga wano mu Kampala wadde nga bamuzaala Ibanda.





Olw'okuba yali abeera ne bazadde be, namutokotera ebbanga okutuusa lwe nnamuwangula omutima era ne tubeera ffembi. Omuggalo gwagenda okubaawo nga mukyala wange yaakasumulukuka era nga nnakawere wa mwezi gumu.

Twasanga okusoomoozebwa kwa maanyi era n'atuuka n'ekiseera ne yeecanga ng'ayagala kugenda waabwe kyokka ng'entambula esibiddwa nga talina ngeri yonna gy'ayinza kutuukayo kuba wala.

Ekyannyamba mu kiseera kino be bantu b'ewaabwe abaamugumya asigale kubanga embeera yali yaakuggwawo ekiseera kyonna.

Ekirala kwe kuba nti nnali nakyala ewaabwe kale nga bammanyi bulungi era kyannyamba obutandekaawo. Ekirala mukyala wange namutuuza ne mubuulira embeera nga bwe yali etambula era ensonga n'agitegeera osanga nakyo kyamuwaliriza okusigala.

Nkubiriza abavubuka bonna okufuba okulaba nga bagenda mu bazadde b'abaagalwa baabwe ne bwe babeera nga tebalina nnyo kye batutte naye waakiri babamanye kubanga nze kyannyamba.

Oluusi kasita olindiriza okukyala ewaabwe w'omukazi oyinza okwekanga nga bikulemeredde.