Kasule Lumumba; Ssenkaggale wa NRM yali waakubeera mubiikira!

Olugero olugamba nti, ‘Emmese bw’ewangaala erwa ddaaki n’erya ku ddiba lya kkapa’, lutuukira bulungi ku Justine Kasule Lumumba, eyasikira John Patrick Amama Mbabazi ku bwassaabawandiisi bwa NRM.

Bya TOM GWEBAYANGA

Olugero olugamba nti, ‘Emmese bw’ewangaala erwa ddaaki n’erya ku ddiba lya kkapa’, lutuukira bulungi ku Justine Kasule Lumumba, eyasikira John Patrick Amama Mbabazi ku bwassaabawandiisi bwa NRM.

Kasule amanyiddwa nga “Yellow Girl w’e Bugiri,” era mu February bwe yali akola embaga e Bugiri, okwekulisa okuwangula ekifo kino, Abasoga baali beewuunya engeri omukazi eyali ow’okubeera omubiikira gy’ayinza okuba ng’alinnyerinnye amadaala, nga kati bwe kataligirya ayinza okufuuka omumyuka wa Pulezidenti!

Okusinziira ku ssemateeka wa NRM, ssaabawandiisi talina kubeera na mulimu mulala , ekitegeeza nti ekifo ky’omubaka wa Bugiri omukazi kikyali kyereere. Obulamu bwa Kasule butambulidde mu bulumi, essanyu n’okunyumirwa.

Lumumba n’Omubiikira ku kigo ky’e Kamuli .

KASULE Y’ANI?
Ye muwala w’omwami n’omukyala Kalooli Kasule ow’e Buwolya mu ggombolola y’e Budhaya mu Bugiri.
Muze Kasule yali “mulinnyabiswa” (munnabyabufuzi) era okuva mu 1987, yali ssentebe wa LC3 ow’e Muterere okutuusa lwe yafa mu 2005, ekitegeeza nti Lumumba ebyobufuzi yayonka biyonke.

Muzee Kasule yali Mukatoliki omugundiivu era muwala we yakuzibwa mu mpisa y’eddiini, ekyamuwa enkizo okulondebwa ku bwassentebe bw’akabondo k’ababaka ba Palamenti Abakatoliki (Catholic Chaplaincy in Parliament).

Okusoma yakutandikira Buwagama Primary, siniya ne Haaya yabisomera Wairaka College, we yava okugenda e Makerere University n’asoma Diguli y’obusomesa gye yamaliriza mu 1995.


Lumumba ng’abuuza ku Pulezidenti Museveni.

Agamba nti mu 1996, yafuna omulimu e Mukono kyokka nga muli awulira omutima gwagala asome Obubiikira, wabula aba akyesisiggiriza, kabiite we Patrick Lumumba n’atandika okumutokota, n’amuwunza n’amwerabiza obubiikira.

Ku mukolo gw’okutikkira bafaaza ku kigo ky’e Irundu mu disitulikiti y’e Buyende gye buvuddeko, Justine Kasule Lumumba yawa obujulizi nti,”Ebintu bizibu, nneegombanga nnyo Obubiikira era bwe nnamala emisomo ne nsalawo ng’ende mbusome kyokka taata w’abaana n’ayingirawo n’abunnemesa!”

Bino okubaawo nga Lumumba naye asomesa Kyambogo University,era obufumbo bwabwe obulimu abaana bukyali guluggulu.

Lumumba ne Kyabazinga Gabula Nadiope.

AYINGIRA EBYOBUFUZI
Mu 1997, disitulikiti y’e Bugiri bwe yasalwa ku y’e Iganga, Kasule yafuna omulimu gw'obulambuzi bw'amasomero e Bugiri.

Yakolako emyaka esatu gyokka, mu 2001 “omuzimu” gw’ebyobufuzi ne gumutemba ne yeesimbawo ku ky’omubaka omukazi n’awangula.

Mu 2006, ku kisanja ekyokubiri yaweebwa obwakaminsona wa Palamenti okumala emyaka etaano; mu 2011 Pulezidenti Museveni n’amuwa obwaminisita omubeezi ow’ensonga z’ebyettaka n’okukulaakulanya ebibuga.

Oluvannyuma yafuuka mmemba ku kakiiko ka NRM ak’oku nttikko aka Central Executive Committee (CEC), we yava okufuuka Nampala w’ababaka aba NRM mu Palamenti, era abadde tabula mu nkiiko za NRM enneekusifu.

Yali musaale mu nkyukakyuka ezaakolebwa mu ssemateeka wa NRM eyawa Pulezidenti Museveni obuyinza okwesimbawo nga tavuganyiziddwa ng’era ye yeerondera ssaabawandiisi ne ttiimu ye.
Lumumba ye yakulira akakiiko akaatalaaga eggwanga okumatiza ababaka b’olukiiko lwa NRM ttabamiruka e Namboole ku nkyukakyuka zino.

Kansala w’eggombolola y’e Namasagali, Daniel Wambuzi agamba nti yadde Kasule alinamu ekkabyo, mukazi muvumu, akola ng’akalogoyi era ekifo akisaanira.

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga yamwogeddeko nti obujjumbize, amazima, obuteetya n’okumalirira bye byamutuusa ku buwanguzi buno.

BY’AKOZE
Kasule Lumumba yayamba okuyingiza amasomero ga Pulayimale ne siniya mu nkola ya Bonna Basome mu magombolola y’e Lwemba, Nabukalu, Budhaya ne Buliidha, n’agattiramu n’ag’omu disitulikiti y’e Namayingo, n’agasakira n’obuyambi ng’amabaati, entebe, ebitabo n’ebyemizannyo.

Yaserekera ekitebe kya disitulikiti eky’Obusiraamu, yayamba okuzimba Obwassaabadinkoni bw’e Bugiri obugenda okufuulibwa Eastern Busoga Diocese, n’amadiini amalala agayambye.

Yassaawo ensawo edduukirira abali mu buzibu ng’okufiirwa, bbasale z’abayizi, okuyamba ebibiina by’abalimi n’ensigo ennongooseemu n’eddagala erifuuyira.

 

Abakyala abawadde entandikwa era jjuuzi yabakwasizza obukadde 55 ezaava ewa Pulezidenti nga zaakwekulaakulanya.

Yasaka jjenereeta okuva ewa Pulezidenti Museveni esunda amazzi mu kibuga ky’e Bugiri ng’amasannyalaze gavuddeko.

Lumumba ne muganda we omubiikira.

EBIZIBU BY’E BUGIRI
Okusinziira ku ssentebe wa LC5, Malijani Azaalwa, enguudo ez’omu byalo ziri bubi kuba tebalina mafuta gatambuza guleeda ezaabaweebwa Gavumenti.

Eddwaaliro ekkulu ery’e Bugiri, n’e Nankoma gakyali bubi kuba ebikozesebwa tebimala; temuli ddagala, kaabuyonjo n’ebiyigo byonna byayonooneka dda, endabirwamu zaayatika era abalwadde basula balwana n’ensiri!

Obwavu bukyali bungi, eby’ennima eyomulembe bangi babikonga lusu kuba okufuna ensigo ennongooseemu kuba kusiitaana, alina ssente n’ow’ekifuba be bafuna.

Ebyo waggulu kwe kusoomoza abaagala okusikira Lumumba kwe balina, ekyakaabizza abangi nti k’afuuse ssaabawandiisi bafudde kuba takyeguya bululu, afuuse wa ggwanga lyonna.

Kasule Lumumba yategezezza nti okuva mu buto yeegombanga nnyo Obubiikira era ng’oluusi awerekera bafaaza n’Ababiikira ku wolutaali ng’akutte obukopo bw’obubaani , Katekisimu oba obusero obw’ebirabo.

Ku mukolo gw’okutuuza bafaaza ku kigo ky’e Irundu mu disitulikiti y’e Buyende, Kasule Lumumba yalaze Sarah Nakyazze, Omubiikira bwe baazirundanga mu kibinja kya The Little Sisters of St. Francis e Nkokojeru.

Okumanya Lumumba yayagala nnyo famire y’ewaabwe eveemu Omubiikira, yaperereza muto we Florence Nakitto n’amuwandiisa. Wadde ye obubiikira bwamulema, mutabani we, Fr Paul Okello, ali ku kigo ky’e Budini mu disitulikiti y’e Kaliro.

Mu ntalo za Kyabazinga, Kasule yawagira Kyabazinga Gabula era ng’atera okugenda ku Lubiri e Buhumbula ne balasa emboozi.

Kasule Lumumba; Ssenkaggale wa NRM yali waakubeera mubiikira!