Tulyafuna: okikola otya?

EYATANDIKIRA mu kutunda obukota bwa ndiizi obubiri kati ab’omu katale k’e Nakawa bamweyitira ‘musiga nsimbi’.

 Tulyafuna (ku ddyo) ku mulimu.

EYATANDIKIRA mu kutunda obukota bwa ndiizi obubiri kati ab’omu katale k’e Nakawa bamweyitira ‘musiga nsimbi’.

Ono yee Abel Tulyafuna 40,( Brown Katunda) omutuuze w’e Kikulu –Kisaasi kati ali mu butunda era nga bizinensi ne kapito bye biri mu bukadde.

Okuva e Rukungiri yonna asobodde atya okweyiiya mu Kampala n’abaawo;

 Bakadde bange ye mwami n’omuky. Raphael Kategeyanga ab’e Lubwoyo –Ndere Ruhinda mu disitulikiti y’e Rukungiri.

 Saasoma kugenda wala era nakoma mu S2 e Kashenyi Secondary. Taata eby’okutuweerera si bye yaliko kuba n’ekirala twali abaana bangi, 12.

Olw’okuba eby’okusoma byali bya nkalu, nasalawo okutandika ka bizinensi era natandikira ku bukota bwa ndiizi bubiri bwe nasala ebiwagu ne mbuteeka mu kaduuka akaali kaliraanye awaka ke bampangisanga 2,000/- buli mwezi.

Amenvu nagaguzanga abantu abakulu n’abaana be twali tusoma nabo. Ekiwagu kyabanga wakati wa 50/- ne 100/- era eyo y’eyali emmanduso y’okufuna kwange.

Enju ya Tulyafuna mu kyalo.

 

Amagoba amatono ge nafunanga ku menvu, nga ngulamu ebintu ebikalu bye nayongeranga mu kaduuka omwali ssabbuuni, ebibiriiti n’ejjirita. Ekyavaamu, kapito yagejja edduuka ne ligaziwa nga kalonda asinga mw’ali.

Bakasitoma bwe beeyongera natandika n’okukolanga ku magoba ge naterekanga. Ssente zino ze natereka kwe nazimba akayumba kange ak’ekivubuka akaasooka aka mabaati n’eba enju eyasookera ddala ey’ebbaati ewaffe mu luggya.

Olw’amala okuzimba nasalawo mpase. Ebyembi nakozesa ssente nnyingi nga ziva ate mu bizinensi era ebbanga bwe lyatambula, sitooko ne kapito yatandika okweveera.

Nafuna mangu ekirowoozo ne nditunda edduuka era ssente ezaali zisigaddemu ezaali 500,000/- ze nakwata ne nnumba ekibuga Kampala mu 1999. Yatuukira wa., era ekibuga akitandika atya? Birinde enkya.