Abatunda ennaanansi bakaaba lwa kidibo

Ennaanansi eyagulanga 5,000/-kati egula wakati wa 2,500/- ne 3,000/- ekikaabizza abasuubuzi mu butale.

 Ronald Mubiru ng'alaga ennaanansi gy'atunda wakati wa 1,500/- ne 2,000/-

Abasuubuzi mu butale obw’enjawulo balaajana olw’ebbeeyi y’ennaanansi egudde.

Omu ku basuubuzi b’ennaanansi mu katale e Nakawa, Ronald Mubiru agamba nti ebbeeyi y’ennaanansi egudde kuba kati ziri mu bungi ate nga ziva ne mu bitundu bingi nga Masaka, Luweero n’awalala.

Agamba nti, kati ennaanansi bazisuubula ku 1,500/- ennene ne bazitunda ku 2,500/-. Ate entono ziva ku 500/-.

Twinamasiko ng'alaga ennaansi gy'atunda ku 2,000/- ku kigaali.

 

Ekizibu ekirala, n’abaguzi batono olw’enkuba etonnya ebalemesa okugenda mu butale okubagulako ate bwe zisulawo nga bazisala ebbeeyi kuba abazireeta babeera batikkula endala.

“Kati ssente ze tusuubuza tezikyavaayo kuba tutuuka n’okuzitunda ku ssente ze tuzisuubulirako tuleme okufiirwa ne kapito nga ziremedde ku midaala,” Mubiru bw’agamba.

Abazitunda ku bigaali basekera mu kikonde

Wabula abamu ku batambuza ennaanansi ku bigaali bagamba nti sizoni eno ebakoledde kuba ebbeeyi yaazo eri wansi olwo bo ne bafunamu ekiwera.

Twinamasiko ng'alaga ekiwayi ky'ennaanansi ky'atunda ku 500/- ekisika abaguzi n'akola amagoba agawera

 

Francis Twinamasiko, atundira ku kigaali mu katale e Nakawa agamba nti eno sizoni ennaanansi nnyingi era ye kimukolera nnyo kuba ennaanansi ze yasuubulanga ku 2,000/- kati bazisuubulira wakati wa 1,200/- ne 1,500/- ate nga bazifuna nga nnungi ate mu bungi.

Agamba nti, kati afuna abaguzi abawera kuba ennamba gye yatundanga ku 5,000/- kati agitunda ku 3,000/- era abantu bazettanidde kuba bw’abalamulira bbeeyi tetiisa kugoba bakasitoma.