Bayiiyiizza ebisero mw'otereka engoye mu bucupa bwa soda n'amazzi

Bw'onywa soda ebiseera ebisinga ekikuggyira mu bwonga kufuna w'okasuka akacupa kuba omugaso gwako guba guweddewo kyokka waliwo abayizi abanoga ssente mu bucupa obusuuliddwa ne babukolamu ebintu ebyenjawulo.

BYA STELLA NAIGINO

Bano basinze kwettanira bucupa bwa soda, amazzi era ebintu bye babukolamu byewuunyisa!.

Innocent Baguma ne banne abalala abasoma ebyobulimi batandise kaweefube ono ow'okukozesa obucupa okukuuma obutonde bw'ensi.

Babuzimbamu  n'ennyumba omuntu gy'asobola okulimiramu nga kino bakikola n'ekigendererwa okukuuma obutonde bw'ensi. 

Bano bakola n'obusero mw'osobola okuteeka kasasiro oba n'oteekamu engoye zo ng'oli ewaka. 

Engeri gye babikola 

Baguma agamba bagenda balonda obucupa buno olwo ne beeyambisa amagezi g'ebbyo bye basoma okufuulamu zaabu.

Awamu bakozesa magezi maganda ne bagatta obucupa obwo nga bakozesa waya era nga bamaze okubukubamu ebituli olwo ne babugatta nga buli kamu katuula ku kanaako.

Ebintu bino babitunda ku mwoleso era olumu ne babiguza bayizi bannaabwe olwo ne bafunamu ekigulira Magala eddiba!.