Twayigira ku bannaffe okutunga engatto ezituliisa kati

Okutunga engatto twamala kulaba bwetaavu mukitundu kyaffe e Nabutitti - Kansanga era tetwejjusa

 Sserebe ng'akola obugwa bw'ateeka ku ngatto

Bya Benjamin Ssemwanga

Abavubuka bakaaba emirimu ne badda mukusaba Gavumenti okubayamba oluusi ekitasoboka kuba teyinza kuwa muntu ssekinnoomu.

George Sserebe, olwakitegeera nti ensi kuyiiya kwe kutandika okutunga engatto nga yayigira ku bantu abaali bakola ezisiibwamu. Annyonnyola nti: Ekirowoozo twakifuna ne bannange basatu nga tulaba obwetaavu bw'engatto e Nabutitti - Kansanga era ne tutandika mu 2018 nga twafuna abatuyigiriza era olwamaliriza naffe ne tutandikawo ekyaffe.

 serebe ngali mu kafo ke wakolera e abutitti Sserebe ng'ali mu kafo ke w'akolera e Nabutitti

 

Bye nfunye

  1. Okubeerako kye nkola ng'omuvubuka ne sifuuka kireereesi.
  2. Nsobola okwebeezaawo nga sisabiriza.

Ebisoomooza

  1. Ebikozesebwa bya bbeeyi ya waggulu nga kw'otadde n'emisolo egiteekebwako emiyitirivu.
  2.  Okuvuganya ku katale ke tutundako engatto nakwo kunene kuba abazikola tuli bangi.
 zimu ku ngatto eziwedde okukola Ezimu ku ngatto eziwedde okukola

 

Tufunamu tutya

Bwe tumala okutunga engatto tuzitunda ku bbeeyi ey'enjawulo okuli 10,000/- ne 15,000/- omuli okutunda mu kamukamu n'okusuubuza.