
Kino kisobola okukolebwa buli ayagadde kubahnga kyetaagisa ssente ntono ddala.
Wadde ng'ennyaanya kimu ku birime ekifuna amangu, naawe atazirima osobola okuzifunamu ng'ozongerako omutindo ng'okolamu Tomato soosi.
· Wetaaga sseppiki mw'ogenda okufumbira ng'eyinza okugula 100,000/-
· Ssigiri ennene ey'okufumba egula 50,000/-
· Sseppiki endala mw'onaawoleza 100,000/-
· Akambe 2,000/-
· Emmeeza 50,000/-.
v Omugatte 320,000/- nga bino obyetaaga gusooka.
Ø Amanda ga 20,000/-. Olina okufumba okumala eddakiika 30 okutuusa ku 90.
Ø Obucupa buli kamu 300/-, bw'obeera okoze 50 wetaaga 15,000/-.
Ø Eddagala eryoza n'okutta obuwuka 10,000/-
Ø Ebirungo ng'enniimu, obutungulu, katunguluccumu n'ebirungo ebirala 10,000/-. Bino bimuyamba okuwagaala nga tayonoonese.
Ø Gula ennyaanya mu kkiro nga buli emu ya 1,500/-. Bw'ogula kkiro 15 kitegeeza nti ogenda kusaasaanya 22,500/-. Omugatte 77,500/-.
v Muno muvaamu obucupa 50 obwa 300ml nga buli kamu katundibwa 3,000/- n'ofuna 150,000/-.
By'olina okwetegereza:
· Bw'ogulira mu kidibo ofunamu nnyo
· Bw'oyongeramu ebirungo nga kaamulali oyita ku banno abalala
· Eccupa gy'okozesa eyinza okukwawula ku balala
· Akatale kanoonyeze mu baliraanwa
· Osobola bulungi nnyo okugukola ng'omulimu ogwongereza ku mulala gw'oba olina kubanga gutwala akaseera katono ddala.