TOP

Abadigize bakyekoze e Busaabala ku Easter Mande

Added 4th April 2013

OBWEDDA abakazi abatuuka ku bbiici nga baggyamu engoye nga basigala mu buwugirwamu oba okusigalira ddala mu koomunda eri abo abatalina buwuga, n’akaleega olwo ne beeyokya amazzi ne kyetinda.

 

 

 

 

Bya Josephat Sseguya Martin Ndijjo ne Moses Nsubuga

OBWEDDA abakazi abatuuka ku bbiici nga baggyamu engoye nga basigala mu buwugirwamu oba okusigalira ddala mu koomunda eri abo abatalina buwuga, n’akaleega olwo ne beeyokya amazzi ne kyetinda.

Baakubye amazzi ekyaleetedde abasajja ab’amaddu nabo okuggyamu engoye ne beeyokya amazzi ne bakuba eddubi.

Obudde bwazze ku bunnaabwo ng’abasajja bano bafunzizza abawala abaabadde mu bukete ne
batandika okubakuba ku bubina ng’abakuba engoma kyokka nga n’abawala bano banyumirwa.

Abalala bakira basitula bannakyala bano nga babatwalira ddala eri mu mazzi amawanvu gye baabadde bawugira.

Buli kadde takisi, bodaboda, amaato, aboobugaali, emmotoka za buyonjo n’entambula endala zaabadde ziyiwa abantu ku bbiici ya Bobi Wine eya One love e Busaabala kyokka nga buli atuukawo aba ng’agamba nti yasubiddwa dda.

Bano kyabayitiriddeko ne basalawo okwebaka mu bisubi.

Kyokka waliwo abaabadde batya amazzi era bano, waliwo agavubuka agaabadde gabagumya ne gabasendasenda ne bayingira amazzi olwo ne kyetinda.

Eby’okunywa byabadde bya ssente ntono kubanga amakampuni g’omwenge gaataddemu ssente wabula n’abataasobodde bya kunywa mwenge, beetaasirizza ku by’okunyw eby’omukka omwabadde zi ‘shasha’, sigala n’ebirala ebyabadde ebizingezinge mu ngeri y’emisokoto emyeru.

Omukwano baagusinze ne bbebi waabwe, ekif Josephat Sseguya

Waliwo abataasobodde kuwuga era bano bevumbye obusikosiko ne mikwano gyabwe abawala ne banyumiza eyo emboozi okuzibya kumpi na kukeesa budde naye no bano poliisi nabo obwedda ebakuuma butiribiri okubalemesa okwekolerawo ekintu kyonna.

Abaabadde bawuga nabo bakira beekokkola poliisi eyabadde tebaganya kusukka we bandikomye
naye bano baagisalidde ag’enkolwa ng’obalengerako mitwe ng’ebiwato byonna n’obubina bibulidde mu mazzi era nga toyinza kumanya kituufu kye bakola okuggyako okubalaba nga beenyenya obutasalako.


Abadigize nga bacamuse,baazinye mazibu, ebif;Moses Nsubuga ne Martin Ndijjo.

Ebyo byabadde bigenda mu maaso, nga n’endongo bw’ekuba obutasalako era nga n’abali ku siteegi banyumirwa.

Olwo zaabadde ssaawa mwenda ez’akawungeezi naye ng’ekifo kyonna kumpi kijjudde ng’abantu beekulisa kutuuka ku Easter Mmande.

Ne bano baabaddeyo; ebif Moses Nsubuga.

Muka Bobi Wine, Barbie ne baganda be baabadde basolooza ssente 5,000/- okuyingira ate nga Bobi ye ali nga kalabaalaba na ddala ku by’okwerinda ebyakoleddwa aba poliisi aba mu yinifomu n’abaleeya okwabadde abategulula bbomu, ab’ekitongole ekikuuma abalambuzi, poliisi y’oku mazzi, ennawunyi n’abalala.

Ebyana nga binyumirwa erizzi, ekif Martin Ndijjo.

Ebbinu ly’okuwuga lyakedde bukeezi okutuusa ssaawa emu ey’akawungeezi poliisi lwe yagobye abaabadde bawuga bonna mu mazzi badde ku bidongo era kye baakoze.

Endongo baagikubye mu kwesasuza olw’ebivvulu bya paasika KCCA bye yasazaamu ate ebitaasazibwamu namuttikwa w’enkuba eyatandika akawungeezi n’abitabula.

Abasajja nga basika omukazi bamutwala mu mazzi, ekif Martin Ndijjo.

Abayimbi mwabaddemu Mathias Walukagga, Dr. Hilderman, Coco Finger, Gravity, Fire base abaakulembeddwa Bobi Wine n’abalala.

Akulira bambega ba poliisi y’e Katwe etwala ne Busaabala, Herbert Wanyoto yavumiridde ebikolwa bino eby’effujjo bye yatadde ku bavubuka obwedda abanywa enjaga naye ne bagibasuuza.

Abaagalana nga basala ddansi, ekif Martin Ndijjo.

Abadigize bakyekoze e Busaabala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...