
Bya MARTIN NDIJJO
OMUYIMBI Raga Dee atuusizza eryato eriwenyuka ng’akaweewo ne yeeragira ku Bobi Wine nti erirye biwero era ky’ekiseera zaabike emipiira.
Eryato lino ery’ekika kya Bayliner - Sports Venture agamba nti yaliguze mu Amerika. Wabula yagaanye okwogera ssente ze yaliguze ng’agamba nti abantu bayinza okumulabira mu kifaananyi ky’okweraga.
“Maani ekya ssente kireke ebintu by’amaswagannabikoowa. Nnabirekera baana bato..., nnyinza okukubuulira ssente abantu abamu ne bandabira mu kifaananyi ky’okweraga ate nga ssente ze ntuufu...”
Bwe twakoze okunoonyereza mu maato ag’ekika kino, gali wakati wa Euro 23,000 ne 49,950 (eza wano obukadde 80 ne 175).
Erya Raga Dee lifaanana bwe liti.
Bobi Wine bwe yatuusa eryato lye ery’ekika kya ‘Yatch’, yeewaana nti ligula doola 750,000 (eza wano ezikunukkiriza akawumbi).
Raga Dee yagasseeko nti, “Nze ndi musajja musuubuzi. Wadde lino nnalireese nga lyange kuliiramu bulamu, nnyinza okufuna ekirowoozo ky’okulitunda omuguzi n’agaana okumpaamu ssente ze njagala ng’atunuulira ezo ze mutadde mu mawulire”.
Okwagala okukakasa Bobi Wine nti eryato lye lya kabi (erya Raga Dee), ku Ssande bwe yabadde aligezesa, yayise Bobi amuvugemu kyokka ne Bobi naye n’aleeta erirye wamma gwe ne zaabika emipiira!
Raga Dee bakira asimbula erirye ne lidduka sipiidi empitirivu nga bwe libuukabuuka mu mita nga 400 n’alisiba omulundi gumu.
Lino ly’eryato lya Bobi lye yawandiikako ‘Omubanda wa Kabaka’.
Waliwo lwe yalisimbudde nga bw’ateekamu obukolomooni bw’okulisundasunda nga bw’oba teweesibye nkoba, oyinza okugwa mu mazzi.
Kino yakikoze emirundi egiwera era Bobi obwedda anyenya mutwe ng’ate ababalaba bwe babakubiraenduulu. Nga bamaze okuwuluira effuta mu lya Raga Dee ne Bobi n’amusaba amuvugemu.
Bano si be bokka abalina amaato agalya esswaga mu Uganda. Waliwo abagagga abalala omuli Capt.
Kassami owa Fusion Band, Sudhir Ruparelia n’abalala.
Eryato lya Bobi nga bwerifaanana mu maaso...ebifaananyi byonna bya Martin Ndijjo.
Raga Dee aguze eryato ne yeewaanira ku Bobi Wine