TOP

Iryn Namubiru akomyewo na nkuba mpya

Added 31st August 2013

OLUVANNYUMA lw’okuwummulamu mu Bufalansa gy’abadde, omuyimbi Iryn Namubiru akomyewo akamirwa bina.Bya MARTIN NDIJJO

OLUVANNYUMA lw’okuwummulamu mu Bufalansa gy’abadde, omuyimbi Iryn Namubiru akomyewo akamirwa bina.

Ng’oggyeeko akanyiriro ak’enjawulo k’ataddeko, aliko obuwero ennaku zino bw’asabula obwogeza abantu obwama.

Endabika ya Iryn ecamudde abamu ku bawagizi be ne babisala nti alabika ayambalira mulenzi (muninkini) we omupya Gabriel Epenu, ave gye yeekwese batandike laavu y’omu lujjudde.

Gye buvuddeko Iryn yategeeza nti afunye omulenzi omupya gw’atayogera okutuusa ebigambo bwe byamusimattuse n’amwogera nga tuli ku ssimu. Emboozi yaffe naye yagenze bweti;

KULIKAYO E BUFALANSA?
Nnavuddeyo.

ABAANA BALI BATYA?
Batabani bange balungi era bakuze.

ATE KITAABWE WAMULESE ALI ATYA?
Hahahaha... N’oyo oyagala kumanya ebimufaako? Yadde sibeera naye kubanga twayawukana mu 2008, mmuwuliza nga taata w’abaana bange era gy’ali mulungi.

ENNAKU ZINO NG’OLI BULALA. OBAZA KALIWA?!
Kiki ky’otegeeza...

NG’AMBA AKANYIRIRO K’OTADDEKO SSAAKO OBUWERO (ENGOYE) ENNAKU ZINO BWE WEESALA OBUKUBA ABALALU...
Hahahaha... Martin tonsesa! Ye nze Iryn gw’omanyi owaabulijjo lwakuba nti emabegako mbadde ne situleesi olw’ebyo ebyantuukako naye ekirungi byaggwa kati nneeyagala

KAPYA KI AKALIWO?
Ndi mu ffumbiro nnina ennyimba empya mwenda okuli ne lwe bayita ‘Kabi ki’ ze nja okutongoza mu maaso awo.

TUBUULIRE KU EPENU, MULINA NKOLAGANA KI?
Era ntegedde nti kino ekibuuzo toyinza butakimbuuza! Ani oyo ayagala okumanya ebyange ne Epenu? Mugambe naye asooke ambuulire ebibye.

BAWAGIZI BO... ANTI TUBIWULIRA MU NKUBOO NTI ATE IRYN NE EPENU BALI BATI... (Mba sinnamalayo n’ambakira nti...) Oba nkuwe essimu ye ggwe omwebuulize...(Aggyayo essimu)

Iryn yayise ku muwala n’amuleka ng’asamaaliridde olw’omusono
gwe ssonsomola. Yabadde ku Kabira e Bukoto.

 

Iryn akomyewo na nkuba mpya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...