TOP

Obulungi bwa Miss Uganda butadde banne ku bunkenke

Added 13th September 2013

EBBUGUMU lyeyongedde mu mpaka za Miss World ezigenda mu maaso mu ggwanga lya Indonesia.Bya MARTIN NDIJJO

EBBUGUMU lyeyongedde mu mpaka za Miss World ezigenda mu maaso mu ggwanga lya Indonesia.

Embooko z’abawala ezisoba mu 130 omuli ne Miss Uganda, Stellah Nantumbwe be bavuganya ku ngule ya nnalulungi w’ensi yonna ey’omwaka 2013.

Agavaayo gagamba nti obulungi bwa Nantumbwe 22, butadde abamuvuganya ku bunkenke era akola butaweera okulaba ng’engule y’ensi yonna akomawo nayo awe ku Bannayuganda essanyu ng’afuuse Munnayuganda asoose okugiwangula nga Kiprotich ow’embiro empanvu bwe yakola ng’atuleetedde zaabu.

Stellah Nantumbwe ng’anyumye mu kiteeteeyi. Wakati ye nnalulungi wa Bahamas. Ku ddyo ye nnalulungi Equatoria Guinea.

Omulamwa guli ‘‘Beauty is purpose’’ obulungi n’ekigendererwa nga bwe gwali ku Miss Uganda. Mu bimu ku bintu Nantumbwe bye yeesigamyeko okuwangula empaka mulimu obukugu mu kuddamu ebibuuzo, okwogera obulungi mu bantu nga tatya n’okukola okunoonyereza.

Ono ye nnalulungi wa Kenya.

Muwala mulungi mu ndabika ate nga muyivu nga n’ebbanga ly’amaze e Bulaaya gyabadde asomera nakyo kyandimuyamba.

EBYAFAAYO BY’EMPAKA ZINO

Omuchina, Yu Wenxia y’alina engule eno oluvannyuma lw’okuwangula empaka ezaali mu Ordos City, China omwaka oguwedde.

Nantumbwe (asooka ku kkono) ne banne nga batendekebwa engeri gye balina okukuumamu emibiri nga giri ffiiti.

Zaatandikibwawo omukyala Eric Morley ow’e Bungereza mu 1951.

Venezuela lye ggwanga erikyasinze okuwangula empaka zino nga baakatwala engule emirundi mukaaga.

Mu mawanga ga Africa, South Africa ye y’akasinga okuziwangula nga yakagiwangula emirundi 2.

Agbani Darego Omunigeria ye Mufrika eyasooka okuziwangula mu 2001 mu mpaka ezaali mu kibuga Sun City mu South Africa.

Nantumbwe ng’ali ne munne ow’e Namibia.

Phiona Bizzu ye Munnayuganda ekyasinze okukola obulungi mu mpaka zino ng’ono yamalira mu bifo 50 ebisooka. Yawangula n’omuntendera gw’okusimula obunnya ng’omuwala asinza ekitone mu by’emizannyo.

OKUWAGIRA NANTUMBWE

Emu ku ngule ezivuganyizibwako ye ya ‘‘Multimedia Queen’’. Eno batunuulira nnalulungi asinza abawagizi ku mikutu gya Face book, Twitter n’emirala buli omu gwe bamuggulirawo.

Okuwagira Nantumbwe, genda ku mukutu gwa Face book ogwa ‘Miss World - Uganda’ okoone ku kagambo ‘like’ okumweyungako. Abategesi batunuulira nnalulungi asinza abantu abangi ne yeewangulira engule eno.

Okuva ku kkno, Nnalulungi w’e Malta. Wakati y'embooko eyavudde Guinea. Ate ku ddyo muwala wa Obama eyavudde mu  Amerika.

ABATEGESI BA MISS UGANDA BOOGEDDE

Janat Nalujja owa Miss Uganda yategeezezza nti balina essuubi mu Nantumbwe okukola obulungi mu mpaka zino kubanga bwe yali tannaba kugenda baamutendeka ekimala ate naye abadde abalaga nti mumalirivu.

Tukimanyi nti okuvuganya kubeera kw’amaanyi ku ngule eno naye tusuubira obuwanguzi nga September 28 lwe bagenda okulangirira omuwanguzi.

Nantumbwe Amerika. (ku kkono) mu kyambalo ky’e Indonesia.

‘Nnayogeddeko naye ku mukutu gwa Face Book n’antegeeza nga bwali mu kukola emikwano nga mu kiseera kino nnalulungi wa Tanzania ye mukwano gwe asinga’.

OKWEKALAKAASA AWALI EMPAKA ZINO

Mu kusooka abategesi baafuna okusoomoozebwa okw’amaanyi Abasiraamu mu Indonesia bwe beeyiwa ku nguudo nga bawakanya empaka za Miss world okutegekebwa mu nsi yaabwe nga bagamba nti zibaamu okukunama ekintu ekikontana n’amateeka sa Shariya.


Stellah Nantumbwe n’abamu ku bakulembeze ba Indonesia.

Kino kyatadde abategesi ku bunkenke ne basazaamu omutendera gw’okwolesa obugoye bwa bikini abasajja bwe basinga okwettanira. Mu nkambi gye baakubye mu kibuga Jakarta bagenda kumalayo wiiki ssatu nga bavuganya ku ngule ez’enjawulo omuli: Okwolesa emisono, okuyimba, okuzannya emizannyo, okwolesa ebitone n’ebirala.

Obulungi bwa Miss Uganda butadde banne ku bunkenke

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...