TOP

Muyimbi ki asinze okukuba omuziki mu 2013?

Added 22nd November 2013

OKUYIMBA kye kimu ku bintu ebirimu okuvuganya okw’amaanyi. Buli mwaka abantu bangi beesogga ensiike y’okuyimba ne bakola n’amaanyi okuvuganya abo ababaddewo ate ng’abakadde bafuba okulaba nga basigala ku ntikko.



 Bya Martin Ndijjo

OKUYIMBA kye kimu ku bintu ebirimu okuvuganya okw’amaanyi. Buli mwaka abantu bangi beesogga ensiike y’okuyimba ne bakola n’amaanyi okuvuganya abo ababaddewo ate ng’abakadde bafuba okulaba nga basigala ku ntikko.

Olw’okuvuganya okw’amaanyi abamu bayimbira emyaka egisoba mu 10 kyokka nga buli lwe bajja ku siteegi babayita bayimbi bato ate abalala eby’okuyimba tebabiwangaaliramu ne babivaako. 

N’omwaka guno ensiike y’okuyimba ebaddemu ebbugumu era abayimbi ab’amannya abamu bavumbeereddemu ate abato ne bawa abawagizi baabwe essanyu n’essuubi nti 2014 baleeta ebyokya n’okwo-ngera okuvuganya.

Tukuleetedde abamu ku bayimbi naddala abatu abakoze obulungi mu 2013.

Irene Ntale: (Mu kifaaananyi ku ddyo)

Singa zibadde mpaka za PAM Awards, ono yandivuganyizza bulungi ku ngule y’omuyimbi omupya sinakindi okugiwangula. Muwala muto, mulungi, alina ekitone ate ng’oggyeeko okuyimba muwandiisi wa nnyimba, mukubi wa bivuga  omuli okusuna gita n’okuyimba mu ddoboozi esseeneekerevu. 

Ntale y’ani?

Alina emyaka 24.

Muwala wa Muky. Robinah Kamya e Ntinda era gy’abeera.

Alina diguli mu ‘Procurement and Logistics Management’ okuva mu Kyambogo yunivasite.  Agamba nti okuva mu buto abadde ayimba mu kkwaaya ya kkanisa ya Victory City Church e Ntinda gy’asabira kyokka ng’okuyimba okw’ensimbi yakutandika mwaka guno. 

Yakola oluyimba lwa ‘Love letter’ ne Bebe Cool olusinze okumutunda.

Alina ennyimba endala okuli: Eno ye ssaawa, Nkubukinze, Stay with me, Remote Control.Bw’aba ayongeddemu amaanyi 2014 asuubirwa okuwamba. 

Kalifa Aga Naga

Amannya ge amatuufu ye Sadati Mukiibi. Yatandika ng’asaaga omwaka oguwedde bwe yakola oluyimba lwa ‘Mina-konda’. Omwaka guno Kalifa akakasizza abaali bamusekerera nti ddala ekitone akirina. Y’omu ku bayimbi abakutte akati ng’enjogera y’ennaku zino bweri olw’ennyimba ze nga ‘Ndabirawo, Ekitangaaza, We are their problem lwe yakola ne Iryn Namubiru ssaako Kizibu lwe yakoze ne Mun. G. 

Rehema Namakula (Rema)

Omwaka we guggweereddeko nga Rema atunda nga keeki eyokya olw’ennyimba ze okuli ‘Kukaliba, Oli wange, Fire to night’ n’endala ezibanyumira ennyo. Okusalawo okwetongola ku Bebe Cool nakyo kimwongedde amaanyi omwaka guno  n’obuganzi era bwe yakola ekivvulu kye ekyasooka ku Equatorial Parking yafuna abantu bangi ekikakasa nti abadde omu ku bayimbi abookya omwaka guno.

Mary Bata Namakula

Ono si muyimbi mupya naye oluyimba lwe olwa ‘Disappointment’ lumutunze mu bantu. Lwe lumu ku zikutte abantu omubabiro omwaka guno.  Ono alina kwebaza mukama we Haruna Mubiru amukutte ku mukono okusobola okutumbula ekitone kye n’okumutunda mu bantu.

Khalifa mu kifaananyi

Gerald Kiweewa 

Omwaka guno Kiweewa yeeyongedde amaanyi mu nsiike y’abayimbi ba kadongokamu. Oluyimba lwa ‘Empaleyo egwa’ mw’ayita okuvumirira emize gy’abavubuka abambala obubi empale ne batuuka n’okulaga amakugunyu lumusitudde ate nga ne ‘Gundi okuze’ lubadde lukyaliko.

Jose Chameleone

Ono bw’ogamba nti olweza lwe baamunaaza lwanoga oba tolimbye.  Buli mwaka tava ku maapu olw’ennyimba ze ennungi. Yalagirawo amaanyi okuviira ddala ku ntandikwa y’omwaka bwe yakola ekivvulu mu April e Lugogo ku Rugby Grounds abantu ne bajjula. Mu kivvulu  ky’Embuutu y’Embuutikizi oluyimba lwe olwa ‘Badilisha’ lwawangudde engule n’obukadde butaano nga olusinze okwokya omwaka guno.

Benah Namisinga 

Ono muto wa Nabbi Omukazi era bayimba bombi mu Revival bandi. Amaanyi galeese omwaka guno galeetedde n’abantu abamu okutandika okugamba nti bbandi  eno kw’etambulira.  Oluyimba ‘onkubyeko ekibaati’ lwe lwamuteeka ku maapu ku nkomerero y’omwaka oguwedde. Kuno kw’ogatta ne ‘Onoobiddamu’ olumukoledde omwaka guno. 

Geo Steady

Ono ye George William Kigozi. Oluyimba lw’omugenzi Elly Wamala ‘Viola’ lwe yaddamu n’alussaamu ebisoko n’okukwata vidiyo endala ey’omulembe lwe lusinze okumutunda. Ono kati ali ku kigezo ky’amaanyi anti bangi bamulindiridde mu 2014 okukubayo oluyimba lwe balabe oba ddala alina ekitone. 

Grey Naava

Ono si muyimbi mupya era empaka za Tusker Project Fame ze zaamuteeka ku maapu.

Ekitone akirina n’ennyimba ze nnungi wabula olw’ekika ky’ennyimba kyakola afuna obuzibu okuzaagazisa abavubuka kubanga abasinga banyumirwa ezo ez’ebidongo.

Omwaka guno ataddemu amaanyi mangi n’ebiseera n’olumu okubeera n’abavubuka.

Irene Namatovu 

Okusalawo okukola ennyimba ne bba, Geoffrey Lutaaya kyongedde Namatovu amaanyi omwaka guno abantu abamu ne batuuka n’okwogera nti ono omwaka guno bbandi ya Eagles kw’etambulidde. Oluyimba lwa ‘Bed cover’ lumukoledde ne bwe yakola lonki ku Obligatto yajjuza. 

Gravity mu kifaananyi

Hassan Ndugga

Ono muyimbi mupya era abasinga bamumanyidde mu mulimu gwe ogw’okusiiga cutekisi. Oluyimba lwe olusoose ‘Ebintu bizibu’ mu bbanga ttono nnyo lumutadde ku maapu n’abamu baluggyeemu eng’ombo era ayogerwako ng’omu ku bayimbi abafunyemu mu mwaka guno gw’atandikiddemu okuyimba. 

JULIANA KANYOMOZI

Talina nnyo nnyimba mpya kyokka enkola ey’okubula ku bawagizi be n’akola ekivvulu kimu omwaka kimutadde mu ddaala lirye yekka.

Bwe yategese ekivvulu ku Serena Hotel, newankubadde kyabadde kya bbeeyi (emitwalo 10) abantu baakijjumbidde nnyo ne yeeyoolera omudidi ekyalaze nti akyali wa maanyi.


Gravity Omutujju

Amannya ge amatuufu ye Gereson Wabuyu. Ayimba Hip Hop abamu kye bayita okutontoma era y’omu basinze okucamula abavubuka olw’engeri gy’agattiriza n’okufukumula ebigambo.

Yasooka kuddamu luyimba lw’omugenzi Paul Kafeero olwa ‘Walumbe zaaya’  abantu abamu ne balowooza nti kijja kumubeerera kizibu okuzzaakooluyimba olulala n’asigala ng’ayokya wabula omwaka guno akoze ennyimba eziwerako okuli:  Winner, Swagga, Malangaja n’endala ate ne zikwatayo.

Bano okutwaliza awamu omwaka guno tegubatambulidde bulungi  ate nga omwaka oguwedde baakola bulungi. 

David Lutalo

Ono alina ennyimba ennungi nga ‘Wa gye tugenda’ kyokka kirabika abulamu maneja amutambuliza ekintu. Bw’oba owulidde ennyimba ze ku leediyo ne ttivvi abantu bazaagala.

Bobi Wine

Oluyimba ‘Akalimu’ lw’atambuliddeko omwaka guno. Okulaga abantu nti yamalayo, yasazeewo n’okutegekera abawagizi be ekivvulu ky’obwereere. 

Mathias Walukaga 

Oluyimba lwa ‘Palamenti’ lw’atambuliddeko omwaka guno terumukoledde bulungi nnyo nga bwe gwali ku ‘Bakoowu’. 

Young Mulo

Ono amalala n’okwewaggula ku bantu ababadde bamuyamba okutumbula ekitone kye omuli  Jose Chameleone ne DJ Shiru kimukosezza nnyo era ennaku zino takyavuga nnyo.

Moze ne Radio

Omwaka guno oyinza okugamba nti be basinze okufulumya ennyimba ennyingi omuli n’ezo ezikutte Bannyuganda omubabiro nga ‘Magnetic, Obudde’ n’endala. Olw’amaanyi ge baleese n’ennyimba ennungi balondeddwa okuvuganya ku ngule ez’enjawulo omuli n’ez’ebweru.

Cindy ne Juliana

Cindy Sanyu:

Omwaka oguwedde ebintu tebyamutambulira bulungi naye guno yeeyubudde. Oluyimba lwa ‘Selekita’ lwe lusinze okumutunda omwaka guno olw’ekiddongo ekirulimu era afuna ddiiru nnyingi naddala ezirimu abavubuka.



 

 

Muyimbi ki asinze okukuba omuziki mu 2013?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rev. Namwanja

▶️ Rev. Namwanja abuulirira...

Rev. Amos Namwanja abuulirira abazadde ku ngeri y'okukuza abaana aboobuvunanyizibwa.

Omuntu w'Abantu; Ssanyu akuleetedde Moses Matovu owa Afrigo.

▶️ OMUNTU W"ABANTU; Tukulee...

Moses Matovu owa Afrigo Band akubuulira ekimuwangaza n'akubiriza n'abantu okukola ennyo basobole okuva mu bwavu....

Wakula ng' asembeza Abakrisitaayo mu kusaba.

Omulabirizi wa Central Buso...

OMULABIRIZI wa Central Busoga  akungubagidde abadde Ssaabasumba wa Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyafudde...

Omugenzi Ssaabasumba Cyprian  Lwanga.

Mmanyi Lwanga okuva obuto -...

FAAZA Joseph Lugobe owa St. Agnes Kibuye-Makindye y'omu ku baludde ne Dr. Lwanga okuva obuto. Anyumirizza Margaret...

Omugenzi Ssaabasumba

Obubaka bwa Ssaabasumba bwe...

Dr. Lwanga yabadde ategese obubaka bw'okusoma ku Paasika e Lubaga. Bwasomeddwa Viika Genero wa Kampala, Msgr. Charles...