TOP

Bugembe alangiridde 2014 ng'omwaka ogw'enkulaakulana mu kusaba

Added 3rd December 2013

Paasita Wilson Bugembe owa Light of the World Church e Nansana alangiridde 2014 ng’omwaka gw’enkulaakulana, okwesiima era ogujjudde ebibala.



Bya EDWARD KALUMBA
Paasita Wilson Bugembe owa Light of the World Church e Nansana alangiridde 2014 ng’omwaka gw’enkulaakulana, okwesiima era ogujjudde ebibala.

Yasinzidde mu kutendereza n’okusaba okukomekkereza omwaka okwabadde mu kisaawe e Nakivubo mu kiro ky’Olwokutaano nga November 29 okwatuumiddwa ‘Worship Night 2013’.

‘’Nnangirira 2014 ng’omwaka ogw’okubotola n’okusamba ebyo byonna ebyekiise mu kkubo ly’enkulaakulana.Teri mwaka gugenda kuba mulungi nga 2014.

Abalokole ng’enjiri ebayingidde.

Mu 2014 Katonda agenda kukolera abantu ebinene. Siriimu agenda kuwona, obwavu, ebisiraani n’amabanja bigenda kufuuka lufumo.

Abantu bagenda kuzimba amayumba, bagenda kufuna ddiguli ez’enjawulo emuli eyookubiri n’eyookusatu.

Twalangirira nti ebisaawe bijja kujjula era mu kiseera kino Katonda atandise okutuukiriza.
Ekkanisa yaffe yatoba okumala emyaka mukaaga naye emyaka ena egiyise gibadde miwoomu.

Embeera y’emu eno Abalokole gye muba musuubira mu bulamu bwammwe mu 2014,” Paasita Bugembe bwe yabuulidde Abalokole abeetabye mu kusaba kuno wakati mu kumukubira emizira.

Omulabirizi David Kiganda owa Christianity Focus Centre ne mukyala we mu kusaba.

Okusaba kwetabiddwamu Abasumba okuva mu makanisa ag’enjawulo mu ggwanga n’ebweru waago.Omulabirizi David Kiganda owa Christianity Focus Centre mu Kisenyi , Omulabirizi Stephen Ssenfuma owa United Christian Centre e Kasubi n’abalala bangi.

Omugenyi ow’enjawulo okuva mu Amerika, Ares Vanides y’omu ku baaweeredde Yesu obujulirwa olw’okuwonya nnyina obulwadde bwa kookolo.

Abayimbi bangi okwabadde Judith Babirye, Joseph Ssegawa, Joseph Ngoma, Paasita Ivan Mudumba, Julie Muteesasira, African Choir n’abalala be bamu ku baayisizza abantu mu kusaba kuno.

Omu ku bagenyi, Ares Vanides eyavudde mu Amerika ng’ayogera Yesu by’amukoledde.

 

Bugembe alangiridde 2014 gw’enkulaakulana mu kusaba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...

Derrick Kakooza, eyateeba ggoolo ey'obuwanguzi ku Mauritania.

Hippos erwanira World Cup

Leero mu Africa U-20 Cup of Nations (Quarter) Cameroon -Ghana,1:00 Burkina Faso - Hippos, 4:00 ez'ekiro ...