TOP

Busy Signal asuubizza okukuba Bannayuganda emiziki leero

Added 5th December 2013

OMUYIMBI Busy Signal eyatuukidde wakati mu ssanyu okuva mu bantu abangi ababadde ku luguudo lw’e Ntebe okutuuka e Kampala wuuyo ku kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde n''awera okukuba Bannayuganda omuziki.



 Bya JOSEPHAT SSEGUYA

OMUYIMBI Busy Signal eyatuukidde wakati mu ssanyu okuva mu bantu abangi ababadde ku luguudo lw’e Ntebe okutuuka e Kampala wuuyo ku kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde n'awera okukuba Bannayuganda omuziki.

Busy Signal eyatuuse ku Lwokuna mu Uganda agenda kuyimbura mu kivvulu kye batuumye 'Busy Signal live' ekigenda okubeera e Lugogo Cricket Oval enkya ku Lwokutaano , yeeyamye okusanyusa Bannayuganda bonna abagenda okweyiwa mu kivvulu kino nga bw’abakubira ennyimba ze empya n’enkadde ezimuwangulidde engule z’ensi yonna.

Signal eyatuukidde mu nnyonyi ya Kenya Airways ku ssaawa ssatu ez'okumakya gw'Olwokuna yasoose kucankalanya mirimu ku kisaawe e Ntebe ekyaleetedde poliisi ekuuma okugoba abantu nga beeremye okuviira abagenyi abalala abaabadde bagumbye nga buli omu alwana kubuuza ku Busy Signal n’okumukwatako mu bugalo.

Busy Signal ng'awuubira ku bantu.

Busy Signal ng'awuubira ku bantu.

Bwe baabawangudde ne bava ku kisaawe ne bagumba ku bbiici ya Spinah e Ntebe awagenda okubeera ekivvulu kye ku Ssande ku15,000 sso nga e Lugogo ab'olukale ba kusasula 20,000/- ne 75,000/- abakungu.

Okuva wano, pikipiki ennene, mmotoka eziwera omuli eza buyonjo ne loole ezaabadde zisibiddwaako emizindaalo nga ziranga Busy Signal, zaakulembeddwa poliisi okutuuka mu Kampala nga buli w’ayita bamukubira mizira.

Ezimu ku ddigi ezaawerekedde Busy Signal

Ebimu ku byana ebyayanirizza Busy Signal. EBIFAANANYI BYONNA BYA JOSEPHAT SSEGUYA

Yabuuzizza ku bantu ku tivvi ya Bukedde, ku Bukedde Fa Ma Embuutikizi, ku tivvi ya Urban gy’azze okuggulawo mubutongole ne X FM.

Busy Signal yeeyamye okukuba Bannayuganda omuziki enkya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...