TOP

Obubina bwa bassereebu bwa ddala oba basiba kiwaani?

Added 25th February 2014

OMUKAZI eyabaza ebbina kizibu okuyita ku basajja ne batanuuka nsingo. Bwe baba basukka mu omu ogenda okulaba nga beekuba obwama nga bwe bamugobereza amaaso n’okukuba obufaananyi okutuusa lwabulirayo.



Bya Martin Ndijjo ne Steven Musoke

OMUKAZI eyabaza ebbina kizibu okuyita ku basajja ne batanuuka nsingo. Bwe baba basukka mu omu ogenda okulaba nga beekuba obwama nga bwe bamugobereza amaaso n’okukuba obufaananyi okutuusa lwabulirayo.


Kuno kwe bagatta okwebaza omutonzi okubatondera ebyengera bya Mungu era bw’osanga abangu nga batandika okukola omuyiggo n’okunoonya nnamba z’essimu babafune.

Wabula abasajja abamu kirabika bazudde ekyama mu bubina bw’abakazi obunene kye bava bayaayaana waakiri okubakwatako bafune essanyu.

Bannaabwe abalina obubina obutono nabo basazeewo okukola kyonna ekisoboka okulaba nga babugezza okuvudde n’enjogera egamba nti ‘tewakyali mukazi atalina kabina’ kubanga osobola okugenda mu dduuka n’okagula ne ‘weepaapaaliza’.

Ku bubina abamu bagasseeko okugezza oba okwambala amakudde amakolerere bakube abasajja. Ate bwe kituuka ku bayimbi ne bassereebu baffe ne gujabagira. Bano obubina babukozesa nga kyakulwanyisa nga ne bw’aba talina luyimba lw’amaanyi n’alinnya ku siteegi n’anyeenya ebbina ng’enduulu evuga.

Pretty Glo . Ku ddyo, Moureen Nantume alina amakudde.



Okugeza Stecia Mayanja yeewaana okubaza ebbina. Amanyi n’okulinnya ku siteegi n’asoomooza bakazi banne abalina endoddo beesowoleyo balondeko asinga. Wadde waliwo abalina obubina obunene, tukizudde ng’abamu balina bwa kiwaani okubba ‘sho’.

ENGERI BASSEREEBU GYE BAGEZZAAMU OBUBINA

Obubina obukolerere

Eno y’emu ku nkola ennyangu basereebu gye bayitamu okugezza obubina gwe amulaba n’otokamanya oba akabina kiwaani. Buno babwambala nga bw’oyambala empale ennyimpi. Munda mubeeramu sipongi era bbeeyi esinziira ku kifo n’ekika.

Agnes Kabanyana akolera ku Corner House mu Kampala yategeezezza nti bizinensi y’okutunda obubina emukolera kubanga afuna bakasitoma bangi. “Teri mukazi atalina kabina. N’abo abalina ‘baawo layini’ twabafunira eddagala kati babigula.”

Yategeezezza nti obubina buno bulimu ebika. Waliwo bw’oyambala ne bukugezza akabina n’amakudde nga akamu kagula 40,000/-.

bulala buliko ggata ekwata olubuto oleme kugejja kabina na lubuto nga kagula 30,000/-.

Ate akabina kokka nga kaliko ‘muscle tight’ kagula 25,000/-.

Desire Luzinda alina amakudde.


 
OMUKUGU ABAWABUDDE


Omukugu mu ssaayansi w’okugezza obubina n’amakudde annyonnyodde emitendera egiyitibwamu okugezza obubina n’obuzibu obukirimu.

Dr. Abass Muwanika agamba nti kisoboka omuntu atalina kabina okukagezza ne lifuuka ebbina nga n’okupapaaza apaapaza. Kino oyinza okukituukako ng’oyita mu kukulongoosa, okukuba empiso n’okukozesa ebizigo.

By’olina okwetegereza nga tonnakikola

Omulwadde nga tannawona tokkirizibwa kulongoosebwa oba okukozesa ekintu kyonna olw’amaanyi g’eddagala erikozesebwa.

Omunywi wa sigala olina okuleekera awo okumunywa okumala ebbanga lya mwezi nga tebannakukolako. Ne bwe baba bamaze olina okuyisaawo emyezi ebiri.

Kabanyana ng’alaga empale z’obubina.



BYE BAKOZESA

Okukyusakyusa akabina oba amakudde kye tuyita ‘Bum/hip argumentation’ kikolebwa omukugu nga yeeyambisa ‘Bum/hip mplants’ ez’ebika eby’enjawulo. Waliwo ezikolebwa mu ‘Sillicone’ nga kino kibeera kisawo ekiri mu nkula y’akabina  nga munda mulimu ebintu ebiringa ebizigo nga bigonda era bwe bakusala bye bakuteekamu.

Enkola endala eyitibwa Brazilian Butt Lift (fat transfer). Bafuna ebitundu ebirimu amasavu nga ku bisambi ne babigatta n’eddagala ne babiteeka mu kabina.

Obuzibu bw’obubina obukolerere

Singa bakulongoosa bubi oyinza okuvunda akabina, omala ebbanga nga lya mwezi ng’oli mu bulumi obutagambika n’oluusi okulemala oba okufiira mu sweeta.

SSENTE EZEETAAGISA

Okulongoosa kuyinza okukutwalako wakati w’obukadde 5 ne 20 okusinziira ku ngeri gy’oyagala akabina ko kalabikemu, ekifo we bakulongooserezza n’obujjanjabi obukuweereddwa.

EBIRALA BYE BAKOZESA

Empiso

Waliwo abamu be bakuba empiso (Macrolane – natural hyaluronic acid injectable).

Stecia ng’asibye ebbina abamu lye baayita ery’ekiwaani.



Ebizigo

Wadde abamu bagamba nti tebikola, e South Africa lye limu ku mawanga omuli abakazi abasinga okwettanira okugezza obubina.

Kino bakikola olw’okutya okubalongoosa ne ssente ennyingi. Ebizigo bino biyitibwa (Ultimate Hips Enlargment) omuli ebika nga Charmir, Brazilian Miracle, Booty n’ebirala. Abakugu bakulagira okwesiiga ebizigo bino ku kabina emirundi ebiri olunaku. Olina  okukikola okumala wiiki 8. Ebizigo ebimu babitabula kuva mu miti, omuddo n’ebikoola.

Okukola dduyiro

Okwefanaanyirizaako abakola emibiri nga bayita mu kukola dduyiro, Bannassaayansi bagamba nti kisoboka omuntu okwogera ku bunene bw’akabina ng’ayita mu kukola dduyiro wabula kayinza obutagejja kwenkana gwe balongoosezza.

Olina okukola dduyiro ng’essira olissa ku nnyama y’okukabina nga bw’olya emmere n’ebintu ebirala ebirimu ebiriisa ebiyamba okuzimba omubiri. Kino kitwala ebbanga eriwerako.
 
BULI MUKAZI MU EAGLES ALINA OKUKOLA AKABINA?

Abayimbi ba Eagles be bamu ku basinza obubina era bubeewaanya. Oli ne bwaba takalina, wayita ebbanga ttono n’akafuna. Kino kireetedde abantu okwebuuza oba tteeka buli muyimbi wa Eagles okuba n’ebbina.

Catherine Kusaasira

Ono baamukazaako lya ‘Maama kabina’. Bwe twamukubidde yagambye, ‘ggwe olowooza bampita ‘Maama kabina’ lwa mpewo. Akabina akange kazaale era kya kulwanyisa. Wano mu Eagles Katonda yatuwa era tewali agula wadde akozesa ekintu kyonna. Ekikulu tulina eddembe ne ssente n’olwekyo omubiri gulina okusumulukuka.
 
Moureen Nantume

Osanga ekibala kiri mu Eagle’s. Buli muntu nga bwe mumulaba mu Eagles akabina ke bwe kaakula era tewali alina kiwaani.
Nze nkakozesa nga kya kulwanyisa. Omanyi kye kitegeeza okubeera n’akabina ng’ate wayawula bulungi? Wadde bangi bagenda mu Eagles nga tebabulina, babufuna olw’enkyukakyuka ezibeerawo mu bantu.
               
Doreen Mutiibwa

Nnina abantu benneekakasa mu Eagles nti obubina bwabwe. Okugeza Stecia ne Kusaasira obwabwe tebuliimu kiwaani. Nze ku lwange sisobola kudda ku byakugezza kabina kubanga omubiri nnina ogumala. Nnyinza okwagala okugezza akabina ate n’ebbeere ne ligejjeramu.

Abalala abalina kye balagawo mulimu Pretty Glo (Pretty Ngabirwe) ne Desire Luzinda. Pretty Glo yagambye nti kituufu waliwo abambala obubina n’amakudde naye ye tali mw’abo. ‘‘Njagala okimanye nti ndi mwana nzaalwa weeri esibuka amata n’omubisi gw’enjuki nabyo ebigezza’’.
 
BASSEREEBU B’EBWERU

Omumerika, Kim Kardashian (Kimberly Noel) ayolesa emisono, dizayina era omuyimbi nga mukyala wa Kanye West y’omu ku boogerwako okugezza obubina n’amakudde.

Ono yali mukyala mutono nga n’akabina alina lubaawo. Waliwo lwe yeeteekamu kaasi era abawagizi be baagenda okuddamu okumulaba ng’apaapaaza. Kigambibwa nti yandiba nga yeekuba mpiso egezza obubina.

Omulala ye muyimbi  Nicki Minaj olw’akabina okweyongera okugejja kumpi buli kiseera.

Obubina bwa bassereebu bwa ddala oba basiba kiwaani?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?