TOP

Stecia Mayanja aleese Abawarabu abafunira Bannayuganda ebyeyo

Added 30th May 2014

OMUYIMBI Stecia Mayanja owa Golden Production attottodde engeri abantu abatamwagaliza kukola mulimu gwa kufunira Bannayuganda mirimu mitala w’amayanja gye bazze bafuba okumulemesa.Bya JOSEPHAT SSEGUYA

OMUYIMBI Stecia Mayanja owa Golden Production attottodde engeri abantu abatamwagaliza kukola mulimu gwa kufunira Bannayuganda mirimu mitala w’amayanja gye bazze bafuba okumulemesa.

Agamba okuva lwe yayingira omulimu guno azze afuna abamulemesa olw’engeri gy’akuttemu ekintu.

Agamba nti, omulimu gw’okutwala abantu e Dubai ne Abu Dhabi, Oman, Saudi Arabia, Jordan, Yemen, Qatar, Kuwait n’awalala gy’abafunira emirimu omuli okukola mu wooteeri, eby’emisono, abeera n’abayonja ebizimbe, abukuumi, bakashiya, okukola mu maduuka, okuvuga emmotoka n’ebirala, agufuniddemu obuzibu bungi okusinga nga buva mu bantu b’avuganya nabo ate nga bamusinga ssente ze bayiwa mu bamwonoona.

Emboozi ye ne Bukedde eyamusanze ku ofiisi ye ku kizimbe kya Equatorial Parking mu Kampala akasenge nnamba 511, yagenze bw’eti; 

Bagamba nti wafera abantu b’otwala ebweru. 

Bampaayiriza siferanga ku bantu. Waliwo abantu abannyonoona nga balaba mbasinze okukola omulimu guno. Omuwala eyayogera ebikyamu yateekebwamu ssente annyonoone naye ne bibalema. Nnina abannwanyisa bangi. 

Ono eyagamba nti nnamufera baamuwa ssente ayogere ebintu ebyo naye ng’ebipapula byonna omuli ne layisinsi emuwa omulimu e Dubai nagimuwa.  Era bye yayogera mu mawulire oluvannyuma yang’amba nti abannwanyisa be baamuwa ssente ne bamugamba agende mu mawulire ampaayirize.

Stecia Mayanja ng’alina by’abuuza abaagala okubafunira emirimu.

Amawulire bwe gaafuluma omuwala n’addukira mu kyalo ne yeekweka. Eno gye nnamuggya ne mmutwala mu ofiisi ekola ku nsonga z’abakozi ne mmwanjulayo ne bamubuuza lwaki yagenze mu mawulire okwogera eby’obulimba.

Nze okumanya siri mufere sandibadde mu ofiisi eno nandibadde nadduka ng’abafere bwe bakola. Bagamba nti kkampuni yange baagiggala naye ebyo bya bulimba.

Eky’okugamba nti nkomyewo abantu 200 be natwala ebweru, nakyo kya bulimba. Ndi muyimbi gwe mwagala atasobola kufera.

Kati kipya ki ky’olinawo?

Kati omulimu ngukola na bumalirivu, nneeyongeddeko n’erinnya nze Stecia Golden Daughter ne Stema njongeddeko erinnya kati ye Stema Uganda Golden kubanga eyakaayakana nga zz’aabu terina nziro yonna.  

Okakasa otya abantu nti kkampuni ya maanyi terina mutawaana?

Nnatandise n’okuleeta wano ba agenti okuva e Dubai tukole nabo ng’abakugu mu kufuna emirimu mu mawanga ag’enjawulo ge nnayogeddeko waggulu. 

Tuan Mohammed (ku kkono) n’omu ku bakozi ba Stema nga bakozesa omuvubuka yintavuyu.

Waliwo eyasoose okujja ayitibwa Tuan Mohammed nga y’omu ku bakozesa yintaviyu era alina obumanyi bungi mu kintu kino n’okunoonya emirimu ebweru. Bano b’empa abaana be nfuna ne babafunira viza z’amawanga ag’ebweru n’emirimu kubanga bo bakafulu mu mawanga gaabwe.

Okugatta ku ekyo era nneegasse  n’omwami omulala ayitibwa Ahmed Kaweesa aludde ng’alwanirira abasenze ku ttaka n’abapangisa. 

Ttiimu nnene ate fenna tuli bamanyi ate tumanyiddwa tetwagala kwonoona mannya gaffe. 

Be mutwala mubasasula mutya?

Abaana bakolera ddala, omwezi bafuna akakadde kamu kitundu ate nga basasulirwawo tebali ng’ebya Uganda. Kyokka ezo ze zimu ku ssente entono, ku mirimu egitali gya bukugu gamba ng’abakuumi, abakola mu wooteeri naye nga tebalina bukugu bungi kubanga ab’obukugu ate basasulwa okusingawo. 

Akwagala akufuna ku ssimu ki?

0782 332847 oba 0701 83 9029 

 

Stecia Mayanja aleese Abawarabu abafunira Bannayuganda ebyeyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...