TOP

Desire Luzinda akung'aanyizza basajja be ne bavuganya, ani alidde?

Added 9th June 2014

BONSATULE baabaddeyo: munnamagye Maj. Juma Seiko abanja omwana, John Kaddu amanyiddwa nga taata w’omwana ne Haji Nasser Ntege Ssebaggala olwo abantu ne batunula nkaliriza nga alagirira omusota, balabe ddala omutima gwa Desire Luzinda gusula wa? 


Bya MARTIN NDIJJO
BONSATULE baabaddeyo: munnamagye Maj. Juma Seiko abanja omwana, John Kaddu amanyiddwa nga taata w’omwana ne Haji Nasser Ntege Ssebaggala olwo abantu ne batunula nkaliriza nga alagirira omusota, balabe ddala omutima gwa Desire Luzinda gusula wa?

We byaggweeredde nga bwe kutaba kweyisaako era bw’aba nga ddala Luzinda teyabadde mu katemba, kirabika omutima gwe gusula wa Haji Nasser Ntege Ssebagala kubanga ye yekka ku basajja bonsatule gwe yakkirizza okumukwatako n’okuzina naye.

Owange sijja kukukwatako bagamba olimu magineeti: Minisita Byabagambi.

Abawagizi ba Desire nga bacamuse.

Bino byabadde mu kivvulu kya Desire Luzinda ekyabadde ku Serena Hotel ku Lwokutaano.

Munnamagye Juma Seiko yeekakabye okuva mu kujjanjabibwa kw’akyalimu n’ajja alabe ku mwana gw’akaayanira naye eyabaddeyo mu kivvulu kya Desire.

Seiko ku Lwokubiri yaweereddwa ekitanda ku May Clinic oluvannyuma lw’okulya ennyama eteeberezebwa okubeeramu obutwa. Ku Lwokusatu yasiibuddwa kyokka ng’akyalumizibwa mu lubuto ekyamuwalirizza ku Lwokutano okukeera ewa Pulof. Ssali bamwoze mu lubuto.  

Desire ne muwala we.

John Kaddu, Desire gw’agamba okuba kitaawe w’omwana we ku kkono.

Okuva eno Seiko yabadde alina okugenda eka awummulemu wabula ono eby’okuwummula yabivuddeko n’asalawo okugenda mu kivvulu kya Desire ekyabaddewo ku Lwokutaano ekiro ku Serena Hotel.

Seiko yabadde yaakatuuka ne John Kaddu (Desire gw’agamba nti ye taata w’omwana) naye n’atuuka ng’ono yazze n’Omulangira Wasajja ne mikwano gye abalala era wano abantu abamu ne balinda okulaba sineema mu kivvulu nga beebuuza ku Seiko ne Kaddu taata omutuufu y’ani.

Desire ng’abuuza ku Mulangira Wassajja, Kaddu teyamubuuzizza.

Ne bw’otombuuza sifaayo kasita omwana wange. Kaddu (wakati) n’Omulangira Wassajja ku ddyo.

Bino byabadde bikyali bityo ate kalabaalaba w’omukolo eyabadde agenda mu maaso n’okwanjula abagenyi nga bwe batuuka n’alangirira nga eyali meeya Nasser Ntege Sebaggala naye bw’amaze ‘okuyingirawo’ olwo enduulu n’evuga era wano abantu abamu baawuliddwa nga bagamba nti ku luno abakung’aanyizza.

Seiko gwe twayogedde naye bwe yabuuziddwa ku ky’okudduka ku kitanda okujja mu kivvulu yagambye nti omu ku balooya ba Desire ate nga mukwano gwe (owa Seiko) ye yamukubidde essimu ez’okumu kumu ng’amusaba agende abeeyo.

Kano k'abawagizi bange, ate kano nakeyambalidde

Omuwala ng’alina by’abuuza Juma Seiko.

“Nze ndi mulwadde era olwaleero (ategeeza ku Lwokutano) nkedde wa Polof. Ssali kunjoza mu lubuto.

Oluvudde mu ddwaaliro kwe kudda awaka mpummulemu naye essimu obwedda ezimpita okubeerawo mu kivvulu nnyingi y’ensonga lwaki nneewalirizza okujja nga nkyali mulwadde.”

Seiko olwalengedde muwala wa Desire kwe kugattako nti “Ani awakana nti omwana oyo si wange laba bw’anfaanana.”

Wabula Desire, ababiri bano (Seiko ne Kaddu) yasazeewo okubeewala bakira obwedda ayimba bw’atambulako ne mu bantu naye ng’abayitako buyisi era ne bwe yatuuse okwebaza abamuwagidde ku lonki ye bano teyabakoonyeeko wadde baamuwagidde.

DESIRE ALAZE SEBAGGALA OMUKWANO

Wakati mu kukubira abawagizi be emiziki, Desire yasuddemu akayimba ka ‘Nkwagala nnyo’ era wano yavudde ku siteegi n’alumba Sebaggala gye yabadde atudde n’amuwa akamuli kuno yagasseeko okumusitula mu ntebe bazinemu olwo enduulu n’evuga ng’abamu bwe bagamba nti bali ababiri tebasobola kusinza seya bukodyo bwa mukwano.

Wamma Seya bali baveeko akamuli kaakano.

Seya ng'anyiga Desire

BASINDANA MU KUSONDA SSENTE

Olw’okuba nti ekivvulu kino kyabaddemu okusondera abaana ba ‘Ibanda Babys Home’ obuyambi Desire yatutte obudde okuyita mu bagagga ababaddeyo okumuwa ssente omwabadde n’abasajja be ng’oyinza okulowooza bano babadde mu kuvuganya.

Nasser Ssebagala eyasoose okusuubiza akakadde, John Kaddu ng’ali wamu n’Omulangira Wasajja ne Paul Kavuma nabo basuubiza kakadde ate Juma Seiko olwamutuuseko yasuubiza kubawa kakadde kamu n’ekitundu.

Abalala abaawaddeyo ye mugagga Godfrey Kirumira yawaddeyo kakadde, minisita Kibuule yawaddeyo kakadde, Capt. Mike Mukula mitwalo 50, minisita omubeezi avunaanyizibwa ku ntambula n’emirimu (Transport & Works), Ying. John Byabagambi yasuubiza bukadde 5 n’abalala.

Minisita Kibuule ondabye omwana bwe mmunyize?

ENNYAMBALA YA DESIRE
Ennyambala ya Desire y’emu ku bintu ebyasinze okucamula abantu abaagenze ku kivvulu kye era eno abamu bavuddeyo nga bafa mabbabbanyi.

Desire yasoose kwambala kagoye akeeru nga mu maaso kampi era nga kamukutte bulungi olwabadde okulinnya ku siteegi abawagizi be bamwaniriza n’enddulu.


Kano ka taata w’omwana, ate kano akamyufu kange nkeeyambalidde

Kano nkambalidde Seiko alabe by’asubwa, ate kano nkambalidde Seya.

Yakyusizza engoye emirundi egyasobye mu ena wabula ng’ezisinga zaabadde nkunamyo.

Ono obwedda buli lw’ajja ku siteegi ng’abasajja bamukubira enduulu abalala nga bamuwaana kuba na kabina n’amakudde abalala nga bamutenda kumansula.

Desire yasiimye abawagizi be obutamusuulirira ebbanga lyonna naye n’abasuubiza ebipya bingi n’agattako nti ebitundu 25 ku 100 ku ssente ezaavudde mu kivvulu kino zigenda kuyamba baana ba Ibanda Baby’s Home .

Abamu ku baabadde mu kivvulu.

 

Desire Luzinda akung’aanyizza basajja be ne bavuganya, ani alidde?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...

Pulaani y'okulonda mu 2021 ...

KU Lwokuna nga January 14, 2021 lwe lunaku lw’okulonderako ababaka ba Palamenti mu ggwanga lyonna. Omulamuzi Simon...

OC asse omutuuze e Lugala -...

OLUTALO poliisi mwe yakubidde omutuuze amasasi n’afiirawo lwatandise na kusobya ku mukazi eyakedde okugenda okukola...

Poliisi ewadde gwe yakuba e...

Poliisi yeetondedde omukazi omukadde eyakwatibwa ku katambi nga ofiisa waayo amuweweenyula kibooko.

Jjingo mutabani wa Yiga Mbizzaayo

Taata akyali mulamu tteke -...

Mutabani wa Paasita Yiga akakasizza nti kitaawe akyali mulamu katebule.