TOP

Abayimbi 6 Lutaaya b'abadde yaakafuna bamudduseeko bagenze wa Kitooke

Added 6th August 2014

ABAYIMBI ba Da Nu Eagles mukaaga bavudde mu kibiina ne beegatta ku Haji Haruna Mubiru “Kitooke” mu Bbandi ye eya Kream Production.



 


BYA RONALD MUBIRU

ABAYIMBI ba Da Nu Eagles mukaaga bavudde mu kibiina ne beegatta ku Haji Haruna Mubiru “Kitooke” mu Bbandi ye eya Kream Production.

Geoffrey Lutaaya ne mukaziwe Irene Namatovu abaatandika Da Nu Eagles mu March w’omwaka guno baayingiza abayimbi abapya 25 ng’abasinga ku bano bawala, wabula ekibiina bakivuddemu olw’ensonga zaabwe ez’obuntu.

Abaavudde mu Da Nu Eagles kuliko; Julian Mulungi, Evelyn Ndagire, Annet Birungi, Brenda Nsimye ne Kukiriza abaagambye nti baakoze okusalawo nga tewali abakase okuva mu Da Nu Eagles okwegatta ku kibiina kya Kitooke nga balaba nti kye kisinga.

Baagasseeko nti babadde bayaayanira okubeera mu kibiina ekibalabamu omugaso n’okubakwata ng’ekyatika kye babadde batafuna mu Da Nu Eagles.

Abamu ku bawala bano balumiriza Lutaaya okubakambuwaliranga ekisusse n’obutabawa mukisa kubeerako na basajja baabwe ng’abakanda eky’okugenda okuyimba mu byalo ne bamalayo wiiki nnamba n’okusukkawo.

Kigambibwa nti abayimbi bano nga tebannava mu Da Nu Eagles baasoose kusisinkana Kitooke ne boogereganya naye era n’abawa obweyamu okubawa ebifo mu kibiina kya Kream Production; era abamu we basinzidde okukiteeka ku Kitooke nti abayimbi bano yapasudde bapasule okuva ku Lutaaya.

Kitooke yali mu Eagles Production nga tennasasika kyokka n’agivaamu ng’agamba asasulwa bitole bya mmere, era mu kuvaayo yagenda yeekokkola abamu ku Badayirekita okwali ne Lutaaya obutatereeza bya nsasula ye.

Okuva ku kkono; maneja wa Kream  Production Rogers Kijjambu, Evelyn Ndagire, Annet Birungi ne Julian  Mulungi abaayabulidde Band ya Da Nu Eagles eya Lutaaya.

LUTAAYA AYOGEDDE: ABO NNAGOBYE BAGOBE
Lutaaya Dayirekita wa Da Nu Eagles agamba nti abana abaasooka okuvaamu baalemesebwa baganzi baabwe abaali batabakkiriza kugenda mu ng’endo mpanvu kwe kusalawo okubawummuza wabula ye Evlyn Ndagire ne Julian Mulungi baalemwa kugoberera mateeka ga kibiina n’abasaba bagezeeko
mu kibiina ekirala.

Yagambye nti abamu ku bayimbi abo balina ebitone era abadde abataddemu n’ensimbi ez’okukwata ennyimba ku ‘vidiyo’ ng’olwa Julian Mulungi olwatuumiddwa “Onnondoola”, kyokka amateeka g’ekibiina galina okuweebwa enkizo era omuntu ne bw’aba n’ekitone naye nga tasobola kugagondera, tebayinza kumugumiikiriza kuba ayinza n’okujeemesa n’abalala.

Lutaaya yagasseeko nti: Waakiri naasigaza abayimbi abatono abasobola okugoberera amateeka okusinga okubeera n’abangi naye nga mulimu abajeemu.

Agamba nti abamu ku bano babadde bakola kitono okwerwanako mu kutumbula ekitone kyabwe n’okuyiiya ennyimba ezibatunda mu bantu ne ziyitimusa Bbandi.

Omu bayimbi abapya Lutaaya be yeenyumiririzaamu ye Betina Namukasa eyayimbye “Emikisa gy’Abakazi”.

Lutaaya ng’agezesa abamu ku bawala ku Dance Floor e Nateete.

NZE NNINA EMMERE ESOBOLA OKUNYIRIZA ABAANA BANO - KITOOKE
Hajji Haruna Kitooke mu kiseera kino akuba bulatti era yategeezezza Bukedde eggulo nti y’alina emmere esobola okuliisa be yayise ‘abaana’ ne banyirira ng’ebinya ebigudde mu mata!

Yagambye nti baamutuukiridde nga baagala okwegatta ku kibiina ekinaabamalako ‘situleesi’ (okweraliikirira) n’abawa omukisa era agenda kubayamba okutuukiriza ebirooto byabwe eby’okufuuka
abayimbi abaatiikirivu.

Omu ku bawala bano, Kitooke yamuwadde Erinnya “Mmunyeenye” ng’agamba nti okwaka kw’aliko, amataala ne bwe ganaavangako mu kivvulu, abadigize baakusigala nga balaba olw’ekitangaala
ekimuvaamu!

Ekimu ku bawala bye babadde batakkaanya nabyo bwe butabawa mukisa kuyimba, Kitooke kye yagambye nti waakukikolako ng’awa abawala bano omukisa okusooka ku siteegi.

Ku nkomerero ya February w’omwaka guno, Eagles Production yeeyuzaamu; Lutaaya ne Irene ne bakola Da Nu Eagles ate Maneja Musa Kavuma n’abayimbi okuli Mesach Ssemakula, Ronald Mayinja, Fred Sserugga, Grace Ssekamatte, Catherine Kusaasira, Doreen Mutiibwa ne Maureen Nantume ne bakola ekibiina ekyabwe ekya Golden Band.

Balutaaya baayita abayimbi abato okubasunsula era abaatandikira mu 2000 baagenda bakendeezebwa okutuuka lwe baggyamu 25.

Abayimbi 6 Lutaaya b’abadde yaakafuna bamudduseeko bagenze wa Kitooke

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...