TOP

Kusaasira alaze omusajja omupya

Added 13th August 2014

OMUYIMBI Fred Sserugga bwe yategedde nti omujaasi eyamusigulira mukazi we, Catherine Kusasira ali mu kivvulu ku Bat Valley n’asalawo okukozesa omukisa guno okumukoona kimudugude.

Bya Josephat Sseguya

OMUYIMBI Fred Sserugga bwe yategedde nti omujaasi eyamusigulira mukazi we, Catherine Kusasira ali mu kivvulu ku Bat Valley n’asalawo okukozesa omukisa guno okumukoona kimudugude.

Abategesi olwayise Sserugga ku siteegi n’abaka akazindaalo n’asuulamu oluyimba “Lengera Zzolo” olugambibwa nti yaluyimba kujolonga musajja eyamusigulira omukazi.

Sserugga olwavudde ku siteegi, Kusasira ye yazzeeko.

Mu ngeri ey’okwesasuza, Kusasira yataddemu oluyimba “Wafuuka bikadde” olwacamudde omusajja Titus Kiwanuka agambibwa nti kati y’apepeya ne Kusasira n’ajja ku siteegi n’amuyiira ssente, ng’enduulu bw’etta abantu.

Mu kiseera ekyo Sserugga yabadde ayimiridde ne Misach Ssemakula mu kasonda ebbali wa siteegi era yalabye embeera emususseeko, kwe kufuluma ne mu kwekandagga n’agenda ku mmotoka ye ey’ekika kya Premio.

Eby’embi nga binajja, n’emmotoka ye yagaanye okwaka ng’omuliro ku ‘’bbaatule’ tekuli, olwo ate n’atandika kunoonya bavubuka abayinza okumuyambako okuyunga waya ku bikondo bya ‘bbaatule’ emmotoka esobole okwaka.

 

Sserugga (ku kkono) bakira ayimba asoomooza Kusaasira (ku ddyo) naye kwe kusaba Ssemakula akazindaalo n’amuddamu mu luyimba.

Wano Kusasira ne Kiwanuka (amanyiddwa ennyo nga Kiwa) we baamusanze ng’akikiitana n’emmotoka UAT 852Z eyabadde emufuukidde ekyambika.

Kusasira yakozesezza ‘limooti’ okuggula emmotoka ye ey’ekika kya Harrier enkola empya egambibwa nti Kiwanuka ye yagimugulira; n’agyesogga ne yeggyawo.

Kiwa tatera kwewa bantu era ne mu kivvulu “Anaamwahhanga” ekyategekeddwa aba Golden Band nga bali wamu ne bannakatemba ba Afri Talent ku Ssande, yazze ataddeko enkofiira ng’emubisse ekyenyi.
Kigambibwa nti enkolagana ya Kusasira ne Kiwanuka egenze wala era bali mu nteekateeka za kukyala mu bazadde ba muwala.

Oluvannyuma lw’ekivvulu, Kiwanuka yeeyogeddeko nga Captain atasaagirwako.

Sserugga ng’emmotoka emutabuseeko.

Sserugga akomye akamiro - Kusaasira
Oluvannyuma emmotoka ya Sserugga yayase era nga tannasimbula n’ategeeza Bukedde nti Kusasira ne munne abataddeko amaaso abiri alabe oba bye bakola binaabaviiramu akalungi!

Kusasira yagambye nti: Kiwa talina mutawaana; Sserugga alina okukimanyiira.

Sserugga ne Kusasira baludde nga balina obutakkaanya era omukazi yanoba enfunda eziwera nga bw’addayo ewa Sserugga kyokka omwaka oguwedde yaviirayo ddala n’adda e Nansana era n’ategeeza nti kati ekibagatta ne Sserugga biri bibiri byokka; baana n’omulimu (okuyimba mu bbandi yeemu).

Bwe yabadde mu muzannyo gwa Anamwahhanga, Kusaasira yazannye awaana omusajja eyamuwa mmotoka n’ategeeza nti, ye tayinza kutta mikisa gya lweza gye yanaabira mu kyogero kubanga obulamu bumpi.

Kusaasira alaze omusajja omupya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...