TOP

Baabano abasinze okuyimba mu 2014

Added 20th December 2014

OMWAKA 2014 guleese ebitone ebipya, abayimbi abato ne basangulawo abanene.

Bya JOSEPHAT SSEGUYA  NE MARTIN NDIJJO


OMWAKA 2014 guleese ebitone ebipya, abayimbi abato ne basangulawo abanene.

Bw’otunuulira oluyimba lwa Sitya loosi olwa Eddy Kenzo olwamenye likodi y’oluyimba olusinze okulabibwa abantu abangi ku mukutu gwa Youtube mu nsi yonna (basukka 5,000,000), okkiriza kubanga tekibangawo mu bayimbi ba Uganda. 

Wabula okunoonyereza okwakoleddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza mu kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde, abantu baasonze ku Love you everyday olwa Bebe Cool nti lwe lusinze.

Irene Ntale yayimbye Gy’obeera nalwo terukyava ku mimwa gy’abantu.

Kino kizzeewo kubanga Sitya loosi, lugenze luggwaawo naye bw’ogeraageranya ebbanga gye lumazeewo, luyinza okuba nga lukyaleebya endala zonna mu buganzi!

Kino kyefaananyirizaako Juliana Kanyomozi bwe yakwata ekifo ekyokuna mu August w’omwaka guno ku lukalala lwa basereebu 100 abaasinga okucamula abantu mu 2014.

Juliana kw’olwo yali ku mwanjo si lwa nnyimba kubanga teyalina za maanyi, naye yali nnyo mu mawulire olw’okufiirwa omwana we, Keron Kabugo nga bw’obuuza omuntu ayanguyirwa okwogera omuntu gw’awulira buli kadde.

Mu kunoonyereza kwa Vision Group okukyasembyeyo, Desire Luzinda yakutte kyakuna ku basereebu abasinze ettuttumu mu 2014. Kino kiri mu ggiraasi nti ekifo yakikutte lwa kwogerwako nnyo olw’ebifaananyi by’obuseegu ebyalagibwa mu lujjudde gye buvuddeko.

Abayimbi abapya batadde akazito ku banene abaludde mu kisaawe kyokka okunoonyereza we kwakoleddwa, ng’ennyimba zaabwe zisse. Ky’ova olaba nga Love you everyday ne Wale wale olwa Chameleone ziri ku mimwa gya bangi.

Ssi lwa kuba nnungi nnyo, wabula zikyali mpya bw’ozigeraageranya ku nnyimba nga Sitya loosi olwa Eddy Kenzo, Gy’obeera olwa Irene Ntale, Muliraanwa olwa King Saha, Twesaana olwa Sheebah Kalungi ne Akantu olwa David Lutalo.

Singa zibadde ngule, Bebe Cool yandizikukumbye n’azimalayo.

Engeri okulonda gye kwakoleddwa

Ekitongole kya Vision Group ekifulumya ne Bukedde ekikola ku by’okunoonyereza kye kyakoze okunoonyereza kuno.
Okunoonyereza kwakoleddwa mu disitulikiti za Uganda ssatu ezisinga okubeeramu abantu abangi omuli Wakiso (mu kubala abantu ye yasinzizza abangi), Kampala ne Mukono.

Abaabuuziddwa baasoose kukakasa nti, bawulirizza leediyo waakiri emirundi ena mu nnaku musanvu ezaakulembedde okukola okunoonyereza kuno.

Abantu abaabuuziddwa baasinze kusangibwanga waka nga kino kyayambye okumanyira ddala nti ababuuziddwa beebo ababeera mu kitundu ekyo n’okubeera nti omuntu ali awaka aba n’obudde bungi okusinga gw’osanze ku kkubo.

Baalonzeemu ebyalo n’emiruka ebisinzaamu abantu abangi nga kino baakikoze okusinziira ku kubala abantu okwa 2002 kubanga kwe kwalaga obungi bw’abantu okutuuka ku kyalo.

Abantu 575 be baabuuziddwa obutereevu okuva awaka; 275 baabadde Kampala, 200 b’e Wakiso, ate 100 b’e Mukono. Abasigadde 228 baasangiddwa mu kkubo.

Irene Namatovu oluyimba lwe olwa Kuzaala kujaagaana lwalondeddwa ku luyimba lwa bbandi olusinze okucamula abantu.

Bapulomoota nabo bavuddeyo

Abtex ng’amannya ge amatuufu ye Abby Musinguzi omutegesi w’ebivvulu agamba, “Olonda otya oluyimba lw’omwaka nga waliwo n’abantu abatalumanyi? Love you Everyday lwa bamwogera Luzungu (Corporate) ate batono.

Bangi tebamanyi wadde okuyimbamu ekitundu ate waliwo n’abataluwulirangako. Sitya loosi olwa Eddy Kenzo lwe luyimba olumenye likodi omwaka guno n’omwana omuto omusanga aluyimba n’amazina gaalwo ganyumirako...”

Omuyimbi we ow’omwaka ye Eddy Kenzo n’addirirwa David Lutalo, Bebe Cool ne Goodlyfe. Omuyimbi we omukazi ye Sheebah Karungi n’addirirwa Irene Namatovu ne Irene Ntale.

Oluyimba lwa Bugembe ‘It’s my turn’ lwe lusinze mu z’eddiini. Abamu baluyita ‘Kankube endongo eno

Balaam Barugahare owa Balaam Marketing Agencies; Abayimbi abato nga Kenzo ne Sheebah Karungi bayimbye nnyo. Oluyimba lwange olw’omwaka ye Wale Wale - Jose Chameleone, Muliraanwa - King Saha, Neera neera - Moze Radio, Twesaana - Sheebah Karungi olwa Gy’obeera - Irene Ntale ne lugoberera”.

Omuyimbi we ow’omwaka ye Jose Chameleone, King Saha ne Goodlyfe.
Omuyimbi omusajja amusingidde be ba Goodlyfe, ne baddirirwa Bebe Cool ne Pallaso. Ate Sheebah gw’awa eky’omuyimbi omukazi n’addirirwa Irene Ntale.

Joanita Kawalya (ku kkono) ne Racheal Magoola aba Afrigo nga basanyusa abawagizi. Afrigo baagironze nga bbandi esinze, n’eddirirwa Da Nu Eagles, Revival, Golden Band ne Fusion Band.

Musa Kavuma maneja wa Golden Band era dayirekita wa KT Promotions; Bebe Cool y’asinze kubanga ayimbye Olungereza ne lukwatayo”.Ku ye, Sheebah Karungi yasinze Irene Ntale. Ebirala yabikkirizza. 

BAABANO ABASINZE OKUYIMBA 2014

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...